Amawulire

Abantu 63 bafiiridde mu kabenje ku luguudo lwe Gulu

ABANTU 63, abaabadde batambulira mu bbaasi bbiri , loole emu ekika kya TATA ne mmotoka ya buyonjo emu okuli ezabadde ziva Kampala okudda e Gulu n’e ziva e Gulu okudda e Kampala batokomokedde mu kabenje dekabuusa ne basaanawo ku kyalo Kitaleba okumpi ne faamu ya Asili Farm.

Emmotoka ezikoze obubenje
By: Joseph Mutebi, Journalists @New Vision

ABANTU 63, abaabadde batambulira mu bbaasi bbiri , loole emu ekika kya TATA ne mmotoka ya buyonjo emu okuli ezabadde ziva Kampala okudda e Gulu n’e ziva e Gulu okudda e Kampala batokomokedde mu kabenje dekabuusa ne basaanawo ku kyalo Kitaleba okumpi ne faamu ya Asili Farm.

Akabenje

Akabenje

Akabenje kano kaguddewo  mu kiro ekyakeeseza leero nga October /22/2025 ku ssaawa 6:15 mu kabenje akatwaliddemu mmotoka nnya nnamba okuli  UBF 614X, Isuzu Bus eya kampuni ya “Nile Star Coaches”, CGO 5132AB 07 Toyota surf, UBK 647C Tata Lorry ne UAM 045V, Isuzu Bus eya kampuni ya ‘Planet Company’.

Akabenje

Akabenje

Okusinziira ku kunoonyereza poliisi kwefulumiza ku mu kutu gwaayo omutongole kweyakakola kulaaga nti ddereeva wa bbaasi nnamba UBF 614X Isuzu eya kampuni ya Nile Star Coaches eyabadde eva e Kampala okudda e Gulu yabadde agezaako okuyisa loole  ekika kya Tata No. UBK 647C nasisinkanayo ne bbaasi enddala ekika kya Isuzu No. UAM 045V, eya kampuni ya ‘Planet Company’.nayo eyabadde egezaako okuyisa mmotoka ta buyonjjo Toyota Surf No.CGO 5132AB 07 ne zambalagaana.

 Mu kavuyo kano bbaasi zombi zakwatagaanye bwenyi ku bwenyi nga buli emu egezaako okuyisa.

Bus

Bus

Ekyaviiriddeko  abagoba b’e mmotoka enddala ezagendedde mu kabenje kano okuziremererwa nga buli omu agezzaako okwetaasa ne zeefula emirundi egy’enjawulo okukakkana nga abantu 63, balusuddemu akaba abalala ne bagendera ku bisaago.

Tags: