Amawulire

Omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu afiiridde ku bodaboda ffamire n'etegeera nga wayise olunaku lulamba!

EMIRANGA n’okwaziirana bisaanikidde eggwanika ly’e Mulago abazadde ne bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya Gavumenti bwe baweereddwa omulambo gwa Maria Angella Namirembe eyatomeddwa mmotoka n’emusesebbula yenna.

Omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu afiiridde ku bodaboda ffamire n'etegeera nga wayise olunaku lulamba!
By: Hannington Nkalubo, Journalists @New Vision

EMIRANGA n’okwaziirana bisaanikidde eggwanika ly’e Mulago abazadde ne bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya Gavumenti bwe baweereddwa omulambo gwa Maria Angella Namirembe eyatomeddwa mmotoka n’emusesebbula yenna.

 

Mmotoka eyamusse yasoose kuttirawo muyizi wa ssomero lya pulayimale erya Eaglets P/S eyabadde asala ekkubo ayingire mu ssomero oluvannyuma n’esaabala pikipiki ya bodaboda okwabadde omugenzi Namirembe eyabadde akedde okugenda ku yunivasite ya UCU okusoma.

Namirembe lwe yasisinkana Besigye.

Namirembe lwe yasisinkana Besigye.

Namirembe abadde asula mu Hostel eyitibwa Precious Mary Courts e Makerere era gye yabadde ava okugenda ku UCU.

 

Mmotoka yamunyigidde wansi mu luwonko n’emumenya amagumba n’okumukutula omugongo ssaako okumunyiga omutwe. Owa bodaboda eyabadde avuga omugenzi Namirembe ye yamumansudde ebbali era naye apooceza mu ddwaaliro e Mulago.

 

Akabenje kaaguddewo ku ssaawa 12:30 ez’oku makya ku Mmande ku luguudo lwa Musajjalumbwa okumpi n’Olubiri lwa Kabaka. Akatundu awaagudde akabenje kalimu amasomero 4 okuli; Eaglets P/S, Kyagwe Road P/S, Eagles Nest SSS ne Uganda Christian University ettabi ly’e Kampala.

Maria Namirembe abadde nnyo mulwanirizi wa ddembe lya buntu

Maria Namirembe abadde nnyo mulwanirizi wa ddembe lya buntu

Wayiseewo olunaku lulamba nga tewali waaluganda wadde mukwano gwe ategedde nti Namirembe yatomeddwa mmotoka. Bonna baategedde ggulo ku Lwokubiri nga ku yunivasite bakuba ku masimu ge nga tegaliiko ate nga ne ku yunivasite teyatuuse.

 

Owa bodaboda eyabadde amuvuga nga kati ali Mulago ku kitanda ye yategeezezza abasawo nti yabadde avuga muyizi wa UCU ne bafuna akabenje.

 

Kansala w’ekitundu ekyo Mariam Nansamba abadde mukwano gwa Namirembe yatuuse mu kifo awaagudde akabenje ne bamutegeeza nti omuyizi naye baamututte ataawa kyokka ensawo omwabadde ebimwogerako baagibbye.

Lwe yasisinkana Katikkiro Mayiga

Lwe yasisinkana Katikkiro Mayiga

Nansamba yeesitudde n’agenda mu ddwaaliro gye yategeeredde nti Angella Namirembe ye yatomeddwa kwe kukubira Loodi mmeeya, Erias Lukwago ne bazadde be abaatandikiddewo okuyambako.

 

Akulira abayizi ku yunivasite ya UCU, Ivan Mwima yategeezezza nti beewunyizza nnyo Angella okusubwa ekibuuzo era baalowoozezza nti afunye obuzibu nga ddala kituufu.

 

Yagambye nti Namirembe y’abadde omulamuzi wa kkooti y’abayizi ewozesa abasiiwuuse empisa era ng’atuula ku lukiiko lw’abayizi olw’oku ntikko.

Nnyina ng'ayaziirana ku ggwanika e Mulago

Nnyina ng'ayaziirana ku ggwanika e Mulago

Omugenzi abadde muyizi mu UCU era nga mukozi mu kibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya Foundation for Human Rights Initiative.

 

Omu ku babadde bamumanyi mu kibiina kino, Henry Bazira Ssewanyana yasaaliddwa nnyo omugenzi n’ategeeza nti eggwanga lifiiriddwa omukulembeze.

 

Bazadde be okuli kitaawe Robert Mutebi ne nnyina Agness Nakandi obwedda baazirana ku ngeri gye bafiiriddwa omwana waabwe abadde atuuse.

 

Namirembe akulidde mu mikono gy’abakulembeze ba DP okuva mu bazadde be e Nakawa nga y’omu ku bawala ab’amaanyi mu kibiina kya UYD yali ku lukiiko olufuzi mu yunivasite y’e Kyambogo.

 

Mu 2021, ye yali amyuka omubaka Zaake Butebi nga omumyuka wa ssentebe w’abavubuka ba People Power mu Buganda.

Yasooka kusoma diguli mu byenfuna e Kyambogo n’addayo n’asoma dipulooma mu mateeka ku LDC. Abadde ali mu mwaka gwa kusatu ng’asoma diguli mu mateeka ku yunivasite ya UCU. Olumbe lwakumiddwa e Mutungo mu zooni IV mu maka ga kitaawe.

Tags:
Amawulire
Angellah Maria Namirembe
Buntu
Ddembe
Bodaboda
Kufa
Kutegeera
Kitalo