Amawulire

Akulira eby'okulonda mu Elgon Region Hajati Sarah Bukirwa alabudde abagenda okwewandiisaku ky'okukuba kampeyini

Akulira eby'okulonda mu Elgon Region,  Hajjat Sarah Bukirwa alabudde abagenda okwewandiisa ku bifo by'obubaka bwa palamenti obutagezaako kukuba nkungaana kuba ekiseera ky'okunoonya akakulu tekinnatuuka.   

Hajjat Sarah Bukirwa
By: Peter Ssaava, Journalists @New Vision

Akulira eby'okulonda mu Elgon Region,  Hajjat Sarah Bukirwa alabudde abagenda okwewandiisa ku bifo by'obubaka bwa paalamenti obutagezaako kukuba nkungaana kuba ekiseera ky'okunoonya akakulu tekinnatuuka.

Bukirwa ategeezezza nti bano baalagiddwa kusisinkana abantu baabwe mu bifo bye baalonze okubayozayoza nti kyokka ssi kukuba kampeyini era abaategezezaako poliisi bebokka abajja okukkirizibwa okusisinkana abantu baabwe.

Bukirwa agambye nti beteeseteese ekimala era nategeeza nti tasuubira kufunamu kutataganyizibwa kuba bawadde abagala okwewandiisa obudde obumala okulaba nga batereeza ebiwandiiko byabwe ate baleme kulemesebwa kwewandiisa mu nnaku entono ezaatereddwawo.

Elgon Region erina disitulikiti 17 okuli Bukwo. Kapchorwa, Kweni, Bulambuli, Butaleja, Mbale city, Mbale, Manafwa, Namisindwa, Buduuda, Tororo, Busia. Butaleja, Pallisa, Butebo, Kibuku ne Budaka

Tags: