EKIKANGABWA kibuutikidde abatuuze ku kyalo Lugali, mu ggombolola y’e Ngando e Butambala abantu ab’ettima bwe bateekedde ennyumba omuliro ne mufiiramu abaana basatu.
Ennyumba eyokeddwa ya Abasi Lubowa, nga abalumbaganyi baagyokezza ssaawa nga 2:00 ez’ekiro ekyakeesezza eggulo.
Abamu ku baana abaasimattuse okuggya
Okusinziira ku batuuze, abatemu kigambibwa nti baasoose kukubira Jjajja w’abaana omukazi abadde abeera nabo nga bamutegeeza nga bwe waliwo mutabaniwe eyabadde alwadde ng’ali bubi nnyo era nga bamuddusiza mu kalwaliro akali ku kyalo.
Jjajja w’abaana olwavuddewo n’alekamu abazzukulu bokka mu nju, olwo abalumbaganyi ne bakozesa akakisa kano ne bayiwa amafuta ga peetulooli okugyetooloola ne munda mu nnyumba olwo ne bateekera omuliro ennyumba n’eteta abaana basatu ne bafiiramu ate mukaaga ne basimattuka n’ebisago. Ennyumba yonna yabaddemu abaana mwenda.
Abaana abaafudde kuliko; Fahad Lutaaya 9, Habib Kizza Yiga, 5 ne Shawalu Ssemwanga 4.
Omu ku baana abaasimattuse ayitibwa Lukia Nakamoga yagambye nti jjajjaabwe yabadde yaakavaawo ne wajja abasajja babiri ne basooka babalagira okufuluma ennyumba ne babeerako ebintu bye bayiwamu munda ne wabweru bye baategedde oluvannyuma nti gaabadde mafuta.
Baalagidde abaana ne badda munda mu nnyumba era waayise akaseera katono ne bawulira ekibwatuka omuliro ne gutandika okuteta.
“Twaggudde enzigi ne tudduka nga buli omu yeetaasa ne tusibira ku muliraano. Kyokka bwe twatuuse nga tulina bannaffe be tutalaba be twalese mu nnyumba era twazzeeyo okubanona nga tuyambibwako baliraanwa, kyokka twagenze okubatuukako nga bamaze okufa,” Nakamoga bwe yattottodde ebyabaddewo.
Nnannyini maka omwagudde ekikangabwa, Abasi Lubowa, yagambye nti ebyabaddewo byamusanze mu maka ge amalala.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu ky’e Katonga, Lydia Tumushabe, yagambye nti baatandise okunoonyereza abali emabega w’ettemu lino.
Ababiri ku baana abaafudde baaziikiddwa ku kyalo Bugobango ekisangibwa mu ggombolola y’e Ngando e Butambala ate omwana omulala yaziikiddwa Lukaya mu disitulikiti y’e Kalungu.