Amawulire

Abasibe 1,798 be baakayimbulwa ku kisonyiwo ky'omukulembeze w'eggwanga

Akakiiko akasemba okugaba ekisonyiwo, katuulako abantu musanvu era nga kakulirwa Ssaabalungamya wa gavumenti ku by'amateeka era nga be baweereza omukulembeze amannya gano, ye n’assaako omukono, okubasonyiwa.

Abasibe 1,798 be baakayimbulwa ku kisonyiwo ky'omukulembeze w'eggwanga
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abasibe 1,798 be baakayimbulwa okuva mu makomera ag'enjawulo ku kisonyiwo ky'omukulembeze w'eggwanga mu myaka ng'etaano egiyise. ( prerogative of Mercy).

Akakiiko akasemba okugaba ekisonyiwo, katuulako abantu musanvu era nga kakulirwa Ssaabalungamya wa gavumenti ku by'amateeka era nga be baweereza omukulembeze amannya gano, ye n’assaako omukono, okubasonyiwa.

Omwogezi w'ekitongole ky'amakomera mu ggwanga, Frank Baine, agambye nti, ebintu bingi ebyesigamwako okusonyiwa abasibe nga mulimu emyaka.

Ebirala, mulimu obulwadde obw’olukonvuba, empisa omusibe z'ayolesa, abakyala abali embuto oluusi ng'ekibonerezo bakikozeeko ebitundu ebiwera 75 ku 100.

Baine ategeezezza nti abasibe 833 be baaweebwa ekisonyiwo nga April, 2020. Nga May 2021   abaayimbulwa, baali 579, ate nga January 3, 2022 abaayimbulwa baali 79.

Ayongeddeko nti nga 11 Jan 2023 baali 13, Aug 20 abasibe baali 2, nga 2024 Oct 15 baali 130 ate Nov 16 2024 baali 19 so ng'ate mu mwaka guno 2025 abaayimbulwa nga Oct 4 ,baali 143.

Tags:
Basibe
Kavuyo
Ggwanga
Kisonyiwo