Ssemaka akaabidde mu kakiiko k’eddembe ly'obuntu bw’abadde alojja kibooko abaserikale b’amakomera ze baamukuba ezaamutta amaka nga kati mukyala we amulabanga mwannyina.
Geoffrey ssenkula 44, mutuuze w'e Bugoma mu ggombolola y’e Kayonza mu disitulikiti y'e Kayunga embeera yamuzitoyeeko ng’anyumya abaserikale b'ekkomera ly’e Kigumba bwe bamubibika kibooko enzibu.
Wangadya Nga Yeetegereza Ebifaananyi Ssenkula Bye Yaleese Okuli Ebiwundu.
Mu November 2009, kkooti yasindika Ssenkulu mu kkomera asibwe omwaka bwe yasingisibwa ogw’okubba embuzi era olwatuukayo enkeera n’abasibe abalala baatwalibwa okunoga kasooli.
Yali anoga omuserikale gye yava n’amugamba agende anoge mu kitundu ekirala olwo Ssenkula n’abuuza lwaki badda awalala nga gye babalagidde tewannaggwa, yaddako kuwulira kibooko.
Kibooko zeeyongera obungi nga Ssenkula takyasobola kugumiikiriza olwo n’agwa wansi nga bw’alajaana ate abaserikale abalala beegattako kibooko ne yeeyongera okunyooka.
Baamugalamiza wansi ne bamwongera kibooko ng’ate buli lw’alekaana kibooko tebagibala. Ssenkula yagambye nti yawulira ng’akabina kalinga akaaka omuliro.
Nga bazzeeyo mu kkomera teyafuna bujjanjabi bwonna era enkeera baamukeeza kugenda kulima kyokka nga tasobola wadde okuyimirira olw’obulumi.
Ssenkula Ng'akutte Ku Ttama Yeeraliikirira.
Ssenkula yagambye nti abaserikale bano baamulemesa n’okufuna obujjanjabi nga n’abantu be bwe bajja okumulambulako babagamba yagenze mu nnimiro.
Embeera bwe yeeyongera okubeera embi baamugamba bamutwala mu ddwaaliro e Kiryandongo kyokka baamuvuga kumutwala mu kkomera ly’eyo.
Ngeno amaziga gamuyitamu yagambye nti kitaawe yajja okumukyalirako basibe banne ne bamutemyako ne yeewalula afulume olwo taata we n’amulaba embeera gye yalimu n’addayo okusaba omulamuzi omusibe bamukendeerezeeko asobole okudda eka afune obujjanjabi.
Yagambye nti omulamuzi yaddamu n’amuyita ku kkooti kyokka naye yeewunya omuntu gwe yasindikika mu kkomera okuba nga yali avunze.
Oluvannyuma yatwalibwa mu ddwliro e Kiryandongo kyokka yali avunze akabina era abasawo okumutaasa baasala ennyama ku bisambi ne bakuba ebiraka ku bbina. Ono obujjanjabi yabufunira Luzira oluvannyuma lwa RDC okuwandiikira ab’amakomera ku mbeera ya Ssenkula.
Ssenkula yabadde mu kakiiko k'eddembe ly'obuntu akakulirwa omulamuzi Mariam Wangadya n’abalaga n’ebifaananyi nga bamusazeesaze ssaako ebbaluwa okuva mu African Center for Treatment and Rehabilitation of Torture Victims ezikakasa nti yatulugunyizibwa.
Abasawo baamulagira obutaddamu kukola mirimu gya maanyi olw’embeera y’omugongo era ekiseera buli lwe kiyita aggwaamu amaanyi, takyalima nga kati ne sitamina mu kisenge temukyali wadde. Mu kkomera yavaayo nga July 30, 2010.
Ssenkula alina abaana 12 be yazaala nga bino tebinnamutuukako kyokka ekisinga okumuluma kwe kubeera nga tasobola kubakolerera nga n’omukyala awaka amutunulako nga mwannyina. Yasabye afune obwenkanya olwebyo ebyamutuusibwako.
Wangadya yalagidde ababaddewo ku lwa ssabawaabi wa gavumenti okunonyereza ku nsonga eno bagende makomera bafune okwewozaako kwabwe kwebabayanjulira akakiiko mu lutuula olunaddako.