Abapangisa b’enju za Kanyike baggudde ku Namulindwa omusango

18th February 2025

ABAPANGISA bankubakyeyo Charles Kanyike Mpagi abalumiriza Flavia Namulindwaokubalumba amatumbibudde n’abakolako effujjo,  bamugguddeko omusangogw’okubatiisatiisa.

Namulindwa ne Kanyike
NewVision Reporter
@NewVision

ABAPANGISA bankubakyeyo Charles Kanyike Mpagi abalumiriza Flavia Namulindwa
okubalumba amatumbibudde n’abakolako effujjo,  bamugguddeko omusango
gw’okubatiisatiisa.
Bano nga bakulembeddwaamu Hakim Balikwisa beekubidde enduulu ku poliisi ya Wakasanke Kinoonya Masanafu mu munisipaali y’e Lubaga nga balumiriza Namulindwa okubalumbagana mu kiro ekyakeesa Olwomukaaga  n’abakolako effujjo okwali n’okubatiisatiisa. Omusango guli ku fayiro SD: REF:13/16/2/2025, nga mu kiseera kino poliisi erinze Namulindwaokumuggyako sitatiment  u byabaddewo.
Balikwisa yategeezezza nti ku ssaawa 10:00 mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga, omuvubuka ayitibwa Moses ng’ali ne mwannyina Namulindwa baamukonkonye wakati mu bukwambwe nga bwe bamusaba ebisumuluzo bya ggeeti ennene Namulindwa asobole okuyingiza mmotoka ye gye yabadde alese ebweru w’ekikomera ky’amayumba ga Kanyike omuli ne Namulindwa mwe yali abeera nga tannagenda
ku kyeyo.
Balikwisa yagambye nti Namulindwa yakonkonye oluggi we nga bw’amulagira okuggulawo amuwe ebisumuluzo bya ggeeti kyokka olw’okuba obudde bwabadde kiro ate nga Namulindwa yajjidde mu busungu yabadde tayinza kumuggulira kwe kusalawo okuwenjula kateni y’eddirisa alabe ogubadde.
Yannonnyodde nti, Namulindwa yamutabukidde ng’amubuuza ye yaggya obuyinza
bw’okubeera n’ebisumuluzo bya ggeeti atali landiroodi era nga yasigadde amwewerera ne mukazi we ng’ono (Namulindwa) yatuuse n’okubabuuza kye bakola ku
nnyumba ze nga tebamusasula.
Balikwisa yayanukudde Namulindwa nga bw’atamumanyi nga landiroodi we kuba  abaakakiiko k’ekyalo baamuwandiikira omwaka oguwedde nga bamutegeeza
nga bw’atalina kuwa bantu ba Namulindwa ssente za bupangisa luvannyuma lw’okufuna obutakkaanya
ne bba.
Yagambye nti mu myaka ebiri gy’amaze ku nnyumba zino abadde asasula baganda ba Namulindwa abaamutegeeza nti be bannannyini mayumba kutuusa Kanyike bwe yavaayo n’amweyanjulira. ohn Bosco Mutumba, omuwandiisi  w’olukiiko lw’ekyalo
Kinoonya awasangibwa amayumba agagulumbya Namulindwa ne Kanyike yagambye nti baafunye okwemulugunya okuva mu bapangisa olw’embeera Namulindwa
gye yabayisizzaamu. Yawadde Namulindwa amagezi okuyita mu mitendera emituufu
bw’aba alina okwemulugunya kwonna mu kifo ky’okukozesa eryanyi. Bino we bijjidde ng’ensonga za Kanyike ne Namulindwa ziri mu kkooti y’e Mengo, Namulindwa gye yaddukira ng’ayagala kkooti ewalirize Kanyike okumuwa ennyumba z’abapangisa
n’amaka mwe yali asula ssaako okumulekera omwana, Kanyike
by’atakkaanya nabyo. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick
Onyango yategeezezza nti poliisi etandise okunoonyereza ku nsonga eno nga kati balinze Namulindwa okuwaayo sitatimenti ye ku byabaddewo

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.