‘Abakyala mwettanire okulima emmwaanyi’

ABALIMI b’emmwaanyi bakubirizza abakyala okwettanira okuzirima mu kaweefube w’okulwanyisa obwavu.

Abamu ku bammemba b’ekisinde kya Patriotic League mu Western Uganda mu lukiiko.
NewVision Reporter
@NewVision

ABALIMI b’emmwaanyi bakubirizza abakyala okwettanira okuzirima mu kaweefube w’okulwanyisa obwavu.
Bino byayogeddwa abakulira ekisindde kya Patriotic League mu Western Uganda okwabadde Gerald Agaba ne Nicholas Asiimwe bwe baakyalidde amyuka akulira ekisinde kino mu ggwanga, Michael Nuwagira Toyota Kaguta. Oluvannyuma baatuuseeko ku Africa
Coffee Park e Ntungamo- Rwashamiire ng’ekifo kino we wasangibwa ekkolero ly’emmwaanyi eppya erisuubirwa okuggulwaawo Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni wiiki ejja.
Bano baagambye nti abakyala abasinga balowooza nti abaami be balina okulima emmwaanyi bokka ekintu kye bagambye nti si kituufu era wano we baasinzidde ne basaba bannaabwe okubeegattako mu kulima emmwaanyi basobole okulwanyisa obwavu.
Basiimye Pulezidenti Museveni ne Dr. Nelson Tugume eyaleeta ekirowoozo ky’okubakolera ekkolero ly’emmwaanyi