Basse omuserikale abadde agenze okuwenja abamenyi b’amateeka

Basse omuserikale abadde agenze okuwenja abamenyi b’amateeka

Naturinda
NewVision Reporter
@NewVision

ABATUUZE batwalidde amateeka mu ngalo bwe bakkakkanye ku muserikale wa poiisi ne bamukuba ne bamutta, oluvannyuma lwa munnaabwe okukubwa amasasi agaamusse.
Abaserikale abalala babiri, bwe baabadde n'omugenzi, nabo tebalabikako nga mu kiseera
kino, poliisi eri mu kubanoonya okuzuula gye bali.
Enjega eno yagudde ku kyalo Tecik mu disitulikiti ya Oyam, abaserikale basatu okuli PC John Bosco Naturinda, D/c Erick Ojok, D/c Robert Aguta okuva ku Ngai Police Station mu Oyam bwe baagenze ku kyalo ekyo okubaako gwe bakwata.
Kigambibwa nti nga batuuse, abatuuze beekumyemu omuliro ne babalemesa okukwata omuntu era nga kino kiddiridde okwerwanako era mu kufulumya amasasi ne gakwata omu ku batuuze n'afa, ekyayongedde okutaamuula batuuze ne bataayizaako omu John Bosco Naturinda abadde addukidde mu maka ga ssentebe wa LC1 ne bamukuba ne bamuttirawo.
Abalala ababiri, tebannamanyikako mayitire era nga mu kiseera kino, poliisi ng'ekulembeddwaamu DPC wa Oyam, Job Mutegeki, bali mu kusamba nsiko okunoonya abaserikale abalala, okuzuula oba ga bakyali balamu okusinziira ku nsonda.