MINISITA omubeezi avunaanyizibwa ku by’Ettaka, Sam Mayanja alabudde bannannyini ttaka abagobaganya abeebibanja n’abagamba nti kye bakola kikyamu
era boolekedde okukwatibwa bavunaanibwe.
Mayanja yabyogeredde ku Pulogulaam Mugobansonga’ ebeera ku leediyo ya Bukedde FM buli Ssande okuva ku ssaawa 1:00- 2:00 ez’akawungeezi. Okukakasa nti okugobaganya abeebibanja kukyamu, Minisita Mayanja aliko ebiragiro bya Pulezidenti bya mirundi esatu bye yalaze by’azze ayisa ku nsonga eno.
Wadde ng’ettaka lya Uganda lirina obwannannyini obw’enjawulo okuli; Customary, Public Land, Lease hold ne Mailo, ekiruubirirwa kya Pulezidenti kwe kulaba ng’oweekibanja abeera ku ttaka nga talina amutaataaganya. Eno y’emu ku nsonga lwaki Gavumenti yawakanya enkola ya ‘Kyapa Mu Ngalo’ kuba kyali tekitegeerekeka kiddako
singa emyaka gya liizi giggwaako.
Y’ensonga lwaki Gavumenti ewakanya enkola y’okusala ku bibinja by’abantu okubawa
ebyapa. “Oweekibanja asobola okutunza nnannyini ttaka mu ngeri ya kyeyagalire ng’ayise mu kumusendasenda n’amuwa ssente ezeegasa. Kyokka bw’aba agaanyi, asigaza obwannannyini bw’ekibanja n’asigala ng’asasula ‘busuulu,” Mayanja bwe yagambye. Pulezidenti yaakayisa ebiragiro bya mirundi satu ng’ayimiriza ab’ettaka
okusengula abeebibanja.
Ekyasooka yakiyisa February 22, 2013 e Rwakitura bwe yalagira nti bakwate era bavunaane oyo yenna anaasangibwa ng’agoba ow’ekibanja aggulweko emisango omuli; okulumya, okwonoona ebintu, okutaataaganya eddembe ly’abafu n’emisango emirala.
Abantu abanaasangibwa nga basenguddwa mu bukyamu, baakuyambibwako Gavumentiokuzzibwa ku bibanja byabwe. Mu kiseera ekyo kyazuulwa ng’abaali basengula abantu baali bakozesa obutamanya bw’abeebibanja. Omuntu okugula ettaka okuli abeebibanja nga tosoose kubasasula ne bavaako mu ddembe, oba oguze mpewo.
Ekiragiro kya Pulezidenti ekyokubiri, kyafuluma July 29, 2020 nga yalagira eyali minisita w’Ebyettaka, Beti Kamya n’ayogera ku kizibu ky’okusengula abantu ku ttaka naddala mu Buganda.
Enkola y’okusala ku kibanja ky’omuntu okugeza ezibadde yiika 8, nnannyini ttaka n’atwalako ettaano ate ow’ekibanja n’asigazaako essatu, kikyamu.
Pulezidenti era yayogera ku buli bw’enguzi obuli mu kkooti z’amateeka n’asaba Ssaabawolereza wa Gavumenti akikoleko. Abantu babiri bokka be balina obuyinza obusazaamu ekyapa okuli; kkooti n’omuwandiisi wa ofiisi z’Ebyettaka (Commissioner of Land Registration). kiragiro ekyokusatu ekigaana okusengula abantu ku ttaka kyayita February 28, 2022 nga ku mulundi ogwo Pulezidenti yawandiikira Katikkiro wa Uganda, Robina Nabbanja.
Ekiragiro kyagaana okuddamu okusengula omuntu yenna ku ttaka okuggyako
ng’ekiragiro kya kkooti kimaze okukkirizibwa akakiiko k’ebyokwerinda aka ‘security
committee’ akakubirizibwa RDC/RCC abalina okusooka okwebuuza ku minisitule y’Ebyettaka. Museveni yalabula nti singa wanaabeerangawo okusengula abantu ku ttaka nga tekugobereddemateeka, abatuula ku kakiiko k’ebyokwerinda be bajja okuvunaanibwanga