Abatuuze e Kassanda balumirizza omugagga okusaawa ebirime byabwe ng’abagoba ku ttaka

Abatuuze basobeddwa bwe baakedde ku makya ne basanga ng’ebirime byabwe bisaayiddwa. Mu bino mwabaddemu emisiri gya kasooli n’ebibira bya kalittunsi.

Abatuuze nga batunuulira ennimiro zaabwe ezaasaayiddwa.
NewVision Reporter
@NewVision

Abatuuze basobeddwa bwe baakedde ku makya ne basanga ng’ebirime byabwe bisaayiddwa. Mu bino mwabaddemu emisiri gya kasooli n’ebibira bya kalittunsi.
Bano balumiriza nti waliwo omugagga aludde ng’abagoba ku ttaka, kyokka
bagamba nti ettaka si lirye nga waliwo nnannyini omulala gwe bamanyi.
Bino byabadde ku kyalo Kagaba mu Bukuya Town Council mu disitulikiti ey’e Kassanda wiiki ewedde.
Abatuuze okwabadde Vincent Mugarura ne banne balina ebibanja ebinene ddala, kyokka abantu abataategeerekese baakozesezza effujjo n’ettima ne basaawa ebirime byonna.
Emisiri gy’emmwaanyi n’ekibira kya kalittunsi ebisussa mu yiika ennya byasaayiddwa ne balaajanira abakola ku byettaka okubayamba.
Bannannyini nnimiro zino okwabadde Ronald Ssemanda, baagambye nti bafiiriddwa kinene nga baagala bafune obwenkanya. Abatuuze abali ku ttaka lino balumiriza ssentebe
waabwe, Gedeo Ssebakyali, nti okuva ensonga zino lwe zaatandika, tabayambye.
Ate nnannyini ttaka, Nsamba yagambye nti amanyi baasaaye birime by’abatuuze.