Eyali amyuka omuduumizi wa poliisi ayiikudde ekkubo erigenda ew’omugenzi Zzimwe

BAMULEKWA ba Andrew Kasagga eyali amanyiddwa ga Zzimwe owa Zzimwe Construction basobeddwa oluvannyuma lw’eyaliko omumyuka w’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Fred Yiga okuleeta ttulakita n’eyiikuula ekkubo eribatuusa mu maka gaabwe.

Fred Yiga (owookubiri ku kkono) ng’alagira abaserikale ba poliisi okwamuka ekifo ekyo.
NewVision Reporter
@NewVision

BAMULEKWA ba Andrew Kasagga eyali amanyiddwa ga Zzimwe owa Zzimwe Construction basobeddwa oluvannyuma lw’eyaliko omumyuka w’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Fred Yiga okuleeta ttulakita n’eyiikuula ekkubo eribatuusa mu maka gaabwe.
Bino byabaddewo ku Ssande ku kyalo Gulama mu Goma Central mu disitulikiti y’e Mukono. IGP Yiga yasoose kuleeta abavubuka abazze n’ensuuluulu ne batandika okusima kkolaasi atuuka mu maka ga Zzimwe nga Yiga agamba nti ekkubo lino liri mu ttaka lye.
Mutabani w’omugenzi Zzimwe, Paul Kasagga ensonga yaziyingiddemu ne bawaanyisiganya ebisongovu n’abavubuka abaabadde basima era Yiga bwe yalabye guli gutyo kwe kutumya ttulakita eyazze n’etandika okuyiikuula. Aba famire ya Zzimwe baakubidde poliisi y’e Mukono eyazze, wabula ne balemwa okubaako kye bakola oluvannyuma lwa Yiga okubalaga ekiragiro kya kkooti ekimukkiriza okukissa mu nkola.
Kigambibwa nti ekkubo lino lyakamala emyaka egisoba mu 20 nga lyakolebwa omugenzi Zzimwe eyafa kati emyaka 15 egiyise. Aba famire ya Zzimwe baategeezezza nti awali ekkubo omugenzi yagulawo ku bukadde 17 okuva mu mukyala wa Yiga, Beatrice Yiga era baaleese n’endagaano eraga obuguzi buno. Mukyala Yiga, naye yabaddewo nga tulakita eyiikuula. Yiga yagambye nti eby’okutunda ekkubo tabimanyi era ssente ze bagamba obukadde 17 tazirabangako. Yagambye nti Zzimwe yaleka we yali alina okussa ekkubo n’alizimba mu ttaka lye era ekifo
we yasenze kikye kuba alina n’ekyapa kyawo. Yagambye nti okusima mu kkubo yabadde
akolera ku kiragiro kya kkooti era talina tteeka lye yamenye