Amawulire

"Mwagalanenga ne bantu bannammwe nga temukyukakyuka"

Ddiini wa Lutikko y'Omutukuvu Nicholas e Namungoona, Dr. Nicholas Bayego asinzidde mu Mmisa gy’akulembeddemu n'asaba  abantu ba Katonda bulijjo okwolesanga okwagala okutakyukakyuka eri bantu bannaabwe wamu n'okutambulira mu bulamu obw'amazima obutali bwakukwenyakwenya bannaabwe. 

"Mwagalanenga ne bantu bannammwe nga temukyukakyuka"
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

KLESIA y'Abasoddookisi mu Uganda ekuzizza olunaku lw'okunyeenya amatabi nga basemberera okumalako ekisiibo ekitukuvu.

Ddiini wa Lutikko y'Omutukuvu Nicholas e Namungoona, Dr. Nicholas Bayego asinzidde mu Mmisa gy’akulembeddemu n'asaba  abantu ba Katonda bulijjo okwolesanga okwagala okutakyukakyuka eri bantu bannaabwe wamu n'okutambulira mu bulamu obw'amazima obutali bwakukwenyakwenya bannaabwe. 

Ye Ssaabakristo wa Lutikko eno, Elias Nsubuga agambye nti kuno kusagambiza kwenyinni era n'asaba Abakkirizza bafune eby'okuyiga mu kunyeenya amatabi ate bakozese olunaku luno okwongera amaanyi mu nteekateeka zaabwe mu kwetegekera okulambula kwa Kabaka mu kifo kino nga April 13, 2026 okukuza amazaalibwa ge ag'emyaka 71 egy'Ekitiibwa. 

Paasika y'Abasodikisi egenda kukwatibwa ku lwa Ssande ejja nga April 12, 2026 okwetooloola ensi yonna. 

Tags:
Matabi
Namungoona
Kunyeenya
Bantu