Nga twolekera emisinde egy'amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’emyaka 71, abaami ba Kabaka mu ggombolola ya Mutuba 9 Goma mu Ssaza Kyaggwe n’abakulembeze mu gavumenti eya wakati balaze obwennyamivu olw’abantu abagufudde omugano okumansa kasasiro buli we basanze ekyolese okubalukawo kw’endwadde eziva ku bucaafu.
Bino bituukiddwako mu bulungi bwansi akedde okukolebwa mu Kabuga k’e Seeta ne bategeeza nti enteekateeka eno y’emu ku zikulembeddemu nga beetegekera okudduka emisinde gi mubuna byalo nga April 12 ku mazaalibwa ag’omutanda.
Kkansala Moses Bukenya, omutongole wa Ssaabasajja Kabaka atwala ekyalo ky’e Ggongobe n’abalala bannyonnyodde nga kontulakiti ya kkampuni eyoola kasasiro mu ggombolola y’e Goma bwe yaggwaako edda era nga kati tebakyafaayo kumuggya mu bantu.
Agambye nti n’obuteefiirayo bw’abantu n’obutamanya bwe bateekeddwa kukwata kasasiro n’okwewala okumusuula buli we basanze nakyo kyongedde nnyo kasasiro okuba omuyitirivu mu kabuga kano.
Ssentebe w’ekyalo Ntinda Hamidu Mulima, ategeezezza nga omuluka gw’e Sseeta bwe gulina omujjuzo ogw’abantu wabula n’anenya munisipaali y’e Mukono obuteefiirayo ku nsonga y’okumukung’aanya, n’alaga obwennyamivu obw’endwadde nga Cholera ezoolese okubalukawo olw’obucaafu.
Godfrey Mubiru omutongole wa Ssaabasajja Kabaka ow’ekyalo Ntinda ye alambuludde ku nteekateeka y’emisinde nga bw’egenda okutambula mu kitundu kino nga April 12 omwezi guno n’ategeeza nga bwe bagenda okusimbula ku Rider Hotel ku ssaawa 12:00 ez’okumakya.
Yayongedeko nga bwe wagenda okubaawo abagenda okudduka embiro empanvu n’abennyimpi era ng’oluvannyuma baggya kubeera n’olusiisira lw’ebyobulamu, abantu we bagenda okubakeberera endwadde ez’enjawulo n’okubawa eddagala.
Abamu ku baguze emijoozi egy’okuddukiramu kwe kubadde n’aba Rider Hotel e Seeta abakunze abantu ba Ssaabasajja mu kitundu kino okugula emijoozi ate era n’okudduka kubanga kuyamba kingi mu mbeera z’obulamu bwabwe omuli okukendeeza ku mugejjo n’emigaso emirala nkumu.
Bano era baagabye emiti mu bantu ab’enjawulo mu Kabuga kano n’ekigendererwa eky’okuzza obuggya obutonde bw’ensi.