Amawulire

ABANTU abatannamanyika basse dereeva w'emmotoka

ABANTU abatannamanyika basse dereeva w'emmotoka , omulambo gwe ne bagusuula okumpi n'oluguudo lw'e ggaali y'omukka e Kireka.

Nsubga Stanely
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABANTU abatannamanyika basse dereeva w'emmotoka , omulambo gwe ne bagusuula okumpi n'oluguudo lw'e ggaali y'omukka e Kireka.

Attiddwa, ye Stanley Nsubuga dereva w'emmotoka ezigibwa mu bond era ng'abadde mutuuze mu zooni ya Kirinnya Main e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira.

Okusinziira ku ssentebe w'ekyalo ekyo Meddie Segawa Kafeero Mudduwulira, agambye nti kaada y'ekyalo omugenzi gy'abadde nayo, y'ebayambye okumutegeera era omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago.

Ayongeddeko nti kirowoozebwa , Nsubuga b'aliba nga balina gye baamuttidde, olwo omulambo gwe ne bagusuula kuleerwe okumpi n'ekkanisa ya Prayer Palace e Kireka. Ayongeddeko nti wakuziikibwa leero e Nakaseke

Tags: