ABAVUBUKA babiri ababadde ku lukakala lw'abamenyi b'amateeka nga bayiggibwa, poliisi ebakutte
Bano, babakwatidde ku Nanteza rd e Kungu nga kuliko Raymond Zziwa amanyiddwa nga Dodo ne Stephen Lubega nga babalumiriza okubeera mu kibinja ekikuba abantu peeva ne bababba.
Babakwatidde mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi e Najjeera ne Buwaate. Babalumiriza okubeera mu kibinja ekiteega abantu ku Nothern by pass n'ebitundu ebirala , ne babakuba n'okubabba era baludde nga babayigga.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, ategeezezza nti mu kikwekweto ekirala ekikoleddwa e Namuyenje, Namayuba ne Nagojje e Mukono, bakutteyo 7 n'ennyondo ebiso n'ebintu ebirala.