JOHN Wataka yagenda mu ddwaaliro lya TASO e Jinja mu July wa 2016 okwekebeza akawuka ka siriimu. Baazuula nga talina kawuka, ne bamugamba ayiseewo akaseera addeyo baddemu bamukebere.
Omulundi ogw'okubiri, baamusanga n’akawuka, era n’amira eddagala okumala emyaka musanvu. Wabula mu 2023 yakizuula nti eddagala yali amira lya bwereere kubanga yali mulamu tteke! Ensonga yazitwala mu kkooti, era omulamuzi yalagidde TASO emuliyirire obukadde 190!
BYATANDIKA BITYA?
Wataka yannyonnyodde nti;
Mu July, 2016 nagenda ku TASO Facility e Jinja okwekebeza akawuka ka siriimu. Ebyavaayo byalaga nti sirina kawuka wabula ne bang’amba nzireyo oluvannyuma lw’emyezi esatu baddemu bankebere. Bwe naddayo, bankebera ne bakantema nti nnina akawuka! Nalaba ng’ensi ekomye. Bambuulirira nti, bwe mba njagala obulamu, mmire eddagala, era natandikirawo nga mbadde ndifunira ku nnamba JIN:1604268.
Mu myezi egyasooka lyankosa nga nneebaka nnyo, era mukama wange ku kkampuni ya Buffalo Rocks Ltd, ekola emirimu gy’obulambuzi yangoba kubanga baakomangawo ekiro nga nneebase nnyo siwulira olw’eddagala eryali lingoya. Nali nkola ng’omukuumi wa sitoowa.
Covid 19 bwe yajja mu 2020, nali sikyalina mulimu embeera n’ennyiga nnyo. Nagenda mu NSSF nfune akasente kange kubanga abalwadde ba HIV balina enteekateeka ebawa akasente kaabwe kabayambe wadde tebannaweza myaka gya ssalira.
Mu NSSF bansaba ebbaluwa ya TASO ekakasa nti ndi mulwadde era ne bagimpa ne ngitwala. Bang’amba nti nabo balina okuddamu okunkebera bakakase. Omusawo wa NSSF yankebera n’asanga nga sirina kawuka era n’agamba nti, sirina bisaanyizo kufuna ssente za NSSF!
Kyantabula kuba nali mmaze emyaka musanvu ku ddagala. Bankebera ogwokubiri ne bazuula nga sirina kawuka. Naddayo mu TASO ne mbategeeza ne bagamba nti bwe mba mmira bulungi eddagala, kiba kizibu okulaba akawuka.
NSSF yankebera emirundi ena nga ndi mulamu, wabula TASO yabiwakanya. Baasooka ne banzigya ku ddagala okumala wiiki 12, ne baddamu ne bankebera. Nneewuuba ku TASO nga tebampa byava mu musaayi okumala emyezi esatu. Wabula, lumu nagwa ku musawo n’ang’amba nti omusaayi gwo baagukebera ng’oli mulamu!
Nakaaba okumala eddakiika nga 30 nga nneefumiitiriza ku bulumi bwe mpiseemu emyaka musanvu nga ndi ku ddagala. Nabuuza aba TASO kye bagenda okunkolera mu mbeera eno, ne bagamba nti tewali wabula mbasonyiwe. Nabasaba omulimu ogw’enkalakkalira ne bagaana ne bang’amba ng’ende mu kkooti, era nange kye nakola.
Nafuna balooya aba Kian Associated Advocates abannyambyeko ne nsobola okuwangula omusango guno era mbeebaza.
ENSALA Y’OMULAMUZI
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu e Jinja, Joanita Bushara mu nsala ye, yagambye nti TASO yalemererwa okukola obuvunaanyizibwa bwayo obw’okusooka okwekebejja obuuma bw’ekozesa mu kukebera, okukakasa oba buli mu mbeera nnungi, nga tebannakebera Wataka.
Ekirala, tebaagoberera mateeka ga kitongole kya byabulamu eky’ensi yonna, agalambika nti, omuntu bw’akeberebwa emirundi ebiri ng’ogusooka gulaga mulamu ate omulala nga gulaga mulwadde, tomuteeka ku ddagala. Olina okusooka okukakasa oba ddala
mulwadde ng’oddamu okumukebera n’enkola ezisingako amaanyi.
Era omulamuzi yagusalidde TASO nti Wataka bwe yamira ku ddagala, lyamuyisa bubi nnyo era n’abagamba, kyokka mu kifo ky’okukebera lwaki limuyisizza bubi, baamugumya nti embeera ejja kutereera.
Omulamuzi yagambye nti, okusinziira ku tteeka erirung’amya enkwata y’akawuka n’abalwadde ba siriimu mu ggwanga, bwe baakebera Wataka ng’ebiva mu musaayi gwe bikontana, baalina okuweereza omusaayi eri minisitule y’ebyobulamu egwekebejje nga tebannamuteeka ku ddagala, ekintu kye bataakola.
Olw’obulumi bw’ayiseemu, omuli okugobebwa ku mulimu, mukyala we okunoba, okusosolebwa, n’ebirala, omulamuzi yasazeewo aba TASO bamuliyirire obukadde 190.