SEMAKA Lumu Hebert agambibwa okutta omuyizi we ssomero lya Hill Side SSS e Matugga mu diviizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana, akomezeddwawo mu maka ge we yakolera ettemu.
Ettemu lino Lumu yalikola ku lunaku lw’abaagalana omugenzi Martin Bukenya bwe yali aleetedde mukwano gwe akamuli ka Valentine eno taata w’omuwala Lumu gye yabasanga n’amukuba okutuuka bwe yafa.

Abatuuze nga bakung'aanye okulaba Lumu
Wakati nga poliisi eri mu maka ga Lumu embeera ebadde ya bunkeke nga poliisi tekkiriza bantu kutuukawo nga ne banamawuulire nabo bagaaniddwa okutuuka mu kifo kino era ebifananyi bibadde byakubbirira olwa poliisi okugaana banamawulire mu kifo kino.
Kiteeberezebwa nti poliisi eriko ebintu by’ezudde ebyateeberezeddwa nti bye yakozesa mu ttemu lino okuli n’emiguwa egyigambibwa nti gye yakozesa okusibisa omugenzi n’amukuba okutuuka bwe yafa.
Wano abatuuze olutegedde nti poliisi ereese Lumu abatuuze ne bakungaana okulaba olubadde era nga nabo poliisi tebakkirizza kutuuka mu kifo kino.
Wano abatuuze bagambye nti Gavumenti yandibadde ekomyawo akalabba abantu nga bano babateekeko. Bano era bagambye nti ekikolwa omusajja ono kye yakola okutta omwana kibi nnyo nga kyandiba nga teyali muwala we.

Omugenzi Bukenya
Abatuuze era bagambye nti amaka Lumu mwe yattira Bukenya si gage nga amaka gano omukazi ye yageezimbira. Christine Namubiru nga mutuuze mu kitundu kino agambye nti abazadde bonna balina ensobi nti baalagajjalira obulamu bw’abaana baabwe.
Bano batuuse n’okugamba nti ssinga si mateeka poliisi yandibadde emubawa bbo ne bamuwa ekibonerezo ekyabwe okusinziira kyey akola omwana waabwe.
Oluvannyuma Lumu azziddwa mu mmotoka ya poliisi n’atwalibwa ku poliisi y’e Matugga.