Amawulire

Okulonda bassentebe b’ebyalo kusuubirwa omwezi ogujjaBukedde akuleetedde akatabo ak’enjawulo ku matendekero ag’ebyemikono

KABINEETI eragidde ministule y'ebyensimbi okuwaayo ssente obuwumbi 56 n'obukadde 946 eri akakiiko k'eggwanga ak'ebyokulonda okutegeka okulonda kwa bassentebe b'ebyalo aba LCI ne LCII.

Minisita Magyezi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

KABINEETI eragidde ministule y'ebyensimbi okuwaayo ssente obuwumbi 56 n'obukadde 946 eri akakiiko k'eggwanga ak'ebyokulonda okutegeka okulonda kwa bassentebe b'ebyalo aba LCI ne LCII.
Bino byakakasiddwa minisita wa Gavumenti ez'ebitundu, Raphael Magyezi bwe yabadde ayanjulira eggwanga ebyasaliddwaawo kabineeti nga yabadde ku Media Centre mu Kampala eggulo ku Lwokubiri.
Magyezi yagambye nti, okulonda kuno kubadde kwakongezebwayo emirundi 6 okuva mu July 2023, ekisanja ky'abakulembeze bano we kyaggweerako wabula ku mulundi guno Gavumenti ssente yazifunye era kuteekeddwa okubaayo. Kabineeti yalambise nti, okulonda kuno kujja kubaawo nga Pulezidenti n'abakulembeze abalala tebannalayira era kusuubirwa okubaawo wakati wa March ne April 2026.
Mu kiseera kino, bakyalindiridde akakiiko k'eggwanga ak'ebyokulonda okulambika ennaku z'omwezi n'ebifo awanaalonderwa ssaako okutimba enkalala z'abalonzi. Era wagenda kubaawo okulonda kw'obukiiko bw'abakyala obw'oku byalo era ng'okulonda kujja kubeera ku byalo ebisoba mu mitwalo 71 n'emiruka egisoba mu mutwalo. Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okulonda kuno kuba obukiiko buno bukulu mu nzirukanya y'eggwanga

Tags: