Abantu 2 bakakasiddwa okufiira mu muliro ogwakutte Sun Rise Hotel mu Kampala wakati

Ku baafudde kuliko munnansi wa South Sudan ne Tanzania

Abantu 2 bakakasiddwa okufiira mu muliro ogwakutte Sun Rise Hotel mu Kampala wakati
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Muliro #Sunrise Hotel #Kizimbe #Kampala #Bantu

Poliisi efulumizza agamu ku mannya g'abantu abaafiridde mu muliro ogwakutte ekizimbe mu Kampalala wakati, eggulo.

Omuliro gwakutte ekizimbe kya Sunrise Hotel ku Rashid Khamis Road mu Kampala ne gulumya n'okutta abantu babiri wamu n'okwonoona ebintu ebibalirwamu obuwumbi bw'ensimbi.

Ekizimbe okuli Sun Rise Hotel ekyakutte omuliro.

Ekizimbe okuli Sun Rise Hotel ekyakutte omuliro.

Kyatwalidde poliisi ekiseera ng'erwanagana n'omuliro guno, nga n'abamu ku bantu baasobodde okubuuka okuva mu kizimbe kino ne bagwa wansi, nga bali bukunya okusobola okwewonya ekibabu.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, ategeezezza nti omu ku baafudde , ye Akot Akol Arop Chan nga munnansi wa South Sudan n'omulala Isa Shineni Mwindadi munnansi wa Tanzania.

Agasseeko nti baasobodde okutaasa abantu 20, obutafiira mu muliro gwe bagamba nti gwatandikidde ku mwaliro ogwa wansi  ne gubuna ekizimbe.