Amawulire

Abakyala ba Buganda 14 bagenze South Africa mu ttabamiruka

EKIBINJA ky'abakyala ba Buganda 14 basitudde okwolekera eggwanga lya South Africa okwetaba mu Ttabamiruka w'abakyala agenda okumala ennaku munaana okutandika olunaku lw'enkya.

Abakyala ba Buganda 14 bagenze South Africa mu ttabamiruka
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

Bano basimbudde ku kisaawe e Ntebe mu nnyonyi ey'ekika kya Link Air okwolekera ekibuga Cape Town e South Africa.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yakwasa abakyala bano bbendera y'Obwakabaka ku Lwokutaano October 21,2022 e Bulange-Mmengo n'abakuutira  okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe nga babeera Bakatikkiro mu maka gaabwe nga bw'olaba Katikkiro wa Buganda bw'akola mu Bwakabaka bwa Buganda. 

Mayiga era yawadde abafumbo amagezi obutayogerayogera bikwata ku baagalwa baabwe eri abantu abalala kabibe birungi oba bibi kubanga be babibulira, bayinza okubyeyambisa ate ne batabula amaka gaabwe.

Minisita w'abakyala mu Buganda Dr. Prosperous Nankindu Kavuma ategeezezza nti olugendo luno lwakuyamba abakyala okuyiga ebintu eby'enjawulo babireete kuno ate nabo bayigirize ebirungi eri abo ababeera wabweru wa Buganda.

Ssentebe wa Ttabamiruka w'abakyala ba Buganda 2022, Dr Sarah Muwonge Nkonge yeebazizza Obwakabaka olw'okubalondamu okugenda ebweru okubeerako bye bayiga ate n'okulaba nga basasaanya obuwangwa bwa Buganda ebweru.

Olukung'aana lwategekeddwa ab'ekibiina kya Gwangamujje Capetown lwakubeera Cape Town mu South Africa lwakutandika nga October 24-31, 2022 nga Dr. Nankindu waakwogerera mu lukung'aana luno mu butongole nga October 30, 2022.

Tags: