Amawulire

Ssentebe w'abasuubuzi akwatiddwa ku by'okukulembera abeekalakaasi

SSENTEBE w'ekibiina omwegattira abasuubuzi ekya KACITA, Issa Sekitto, akwatiddwa poliisi ne bamugatta ku basuubuzi 13, abasoose okukwatibwa eggulo mu kwekalakaasa mu Kibuga.

Ssentebe w'abasuubuzi akwatiddwa ku by'okukulembera abeekalakaasi
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

SSENTEBE w'ekibiina omwegattira abasuubuzi ekya KACITA, Issa Sekitto, akwatiddwa poliisi ne bamugatta ku basuubuzi 13, abasoose okukwatibwa eggulo mu kwekalakaasa mu Kibuga.

Tannaggyibwako sitatimenti wadde okumunnyonnyola omusango gwe yakoze mu kiseera kino, ng'okubuuliriza bwe kukolebwa.

Kigambibwa nti bano, babalumirizza okwenyigira mu kwekalaakasa n'okulumya abaserikale ba poliisi babiri era nga mu kiseera kino, bakuumirwa ku poliisi ya CPS mu Kampala nga fayiro yaabwe , eweerezeddwa ew'omuwaabi wa gavumenti okubawabula.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, alabudde abasuubuzi okwewala okutiisatiisa bannaabwe abaasazeewo okuggula amaduuka gaabwe.

Tags:
Amawulire
Ssekitto
Isa
Kibuga
Kwekalakaasa