OMUWENDO gw’abayizi ba pulayimale ne siniya abafuna embuto mu disitulikiti y’e Namayingo gwennyamiza.
Okusinziira ku kitongole kya UNICEF, abaana ebitundu 27% be bafuna embuto buli mwaka. Bano nno basinga omuwendo gw’abaana abafuna embuto mu ggwanga lyonna abali ebitundu 25%.

Abawala abaazaala nga bawuliriza omusawo
Disitulikiti eno erimu ebizinga nga sigulu, Dolwe ne Migingo era erimu n’emyalo ng’emirimu egisinga okukolebwayo mulimu; obuvubi, okusima zzaabu n’obusuubuzi. Namayingo erimu abantu abasukka mu mitwalo 28 aba kabira ez’enjawulo.
Elizabeth Anyango okuva mu kitongole ky’ebyenjigiriza agamba nti omuwendo gw’abaana abafuna embuto gweyongera okulinnya buli lukya olw’obwavu obungi obuli mu bantu ate nga n’abazadde bangi eby’okusomesa abaana tebabifaako, balaba ng’okwonoona ssente.
Ate abalala balagajjalira abaana baabwe ne kibaviirako okutandika eby’okwegatta nga bato ddala.
Ekyennaku, abaana abamu baagala okusoma kyokka balemesebwa engendo empanvu ze batambula okutuuka ku masomero. Olwo ne babivaako kubanga disitulikiti erina amasomero matono ate nga geesudde mayiro eziwera.
Okugeza, ebizinga ebimu tebirina masomera ga siniya. Abazadde abatasobola kuweereza baana baabwe ku lukalu, olumala pulayimale we bakoma, olwo abawala nga bafumbirwa. Ekirala ekyennyamiza, Anyango agamba nti abaana bano abasinga abafuna embuto ate bafunirayo n’ekirwadde kya mukenenya ate era bangi bafiira mu ssanya.
Ebyo nno byatanudde minisitule y’ebyenjigiriza nga bali wamu ne Trailblazers Mentoring Foundation (TMF) n’ekitongole kya UNESCO okusitukiramu ng’ekiwundu tekinnasamba ddagala.
Ku Mmande n’Olwokubiri lwa wiiki eno baasisinkanye abakulira amasomera n’abobukiiko obufuga amasomero ga pulayimale ne siniya abaaweze 175 ne bababangula ku ngeri gye bayinza okuziyiza abaana okuwanduka mu ssomero.

Abamu ku basomesa abeetabye mu musomo e Namayingo
Bano baabadde ku Namayingo Primary school. Bakkiriziganyizza okuteekawo embeera ennungi mu masomero gaabwe era bakomye okutulugunya n’okusosola abaana abalina mukenya. Era bagenda kusomesa abaana bonna ku siriimu n’engeri gye basobola okwekuuma n’okukuuma emibiri gyabwe.
Muhamadi Kasule, omuwi w’amagezi ku byobulamu ku minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo yennyamidde olw’abaana abangi abava mu ssomero oluvannyuma lw’okufuna embuto ekibateeka mu matigga g’okufuna mukenenya.
Yasabye abasomesa okuyamba abaana abo okwekkiririzaamu kubanga nabo basobola okufuuka abaamaanyi mu ggwanga.
Ye Joyce Atimango akulira TMF yagambye nti essira balitadde ku bakulira amasomero kubanga balina obuyinza obukyusa engeri abaana gye bayisibwamu. Wabula bangi babadde tebamanyi ngeri ya kukwatamu baana abo n’okuziyiza abalala obutava mu ssomero kwekusalawo bababangule era asuubira nti bagenda kuleetawo enjawulo ey’amaanyi.