Abakkiriza e Kawanda nabo 2023 bamuyingiridde mu kwegayirira Mukama Katonda asanyuse emitima gyabwe

ABAKKIRIZA bazze mu bungi ku kkanisa ya St. James Kawanda Church of Uganda esangibwa mu busumba bw'e Kiryagonja wakati mu kwegayirira Mukama kw'ebyo bye baagala abakolere mu mwaka ogwa 2023. 

Abakkiriza e Kawanda nabo 2023 bamuyingiridde mu kwegayirira Mukama Katonda asanyuse emitima gyabwe
By Wasswa Ssentongo
Journalists @New Vision
Omubuuliizi w'ekkanisa ya St Stevens e Mpererwe, Elijah Sekiziivu ye yabadde omubuuliizi  w'olunaku n'akuutira abakkiriza okusaba Mukama ebyo bye baagala abakolere mu 2023 olwo essaala n'enyooka.
 
Ono yayingizza abantu omwaka wakati mu kwegayilira n'abasaba okuleka ebizibu bye balina mu mwaka omukadde batandike omupya nga balina essanyu.