Bya Tom Gwebayanga
Abamu ku Bakaramoja balombozze engeri enjala gyebagoyaamu.
Sylivia Akut, 60, ategeezezza nti akawunga k’abazirakisa bwekabula, asiibirira makoola ga muwogo g’anoga mu misiri gy’abatuuze, bwe bamugaana ng’addayo eka n’asula enjala.
Zakaria Tukei, 68, ono ate ku njala yagattako n’obulwadde bw’enjovu obwamuzimbya ebigere ne bumugaana okutambula anoonye akamere.
“Ebigere byansalako era bye bijja okunzisa enjala. Ey’aligenze nsabirize obukunkumuka mu bataka sisobola. Ng’enda kufiira mu nnyumba obw’omu kuba saazaala ku mwana,” Tukei bwe yagambye.
Cecilia Nache, 70, ow’e Kokoi mu ggombolola y’e Namalu, agamba nti olumu bw’atafuna kyakulya, afumba amazzi omutali yadde empeke ya sukaali n’anywa ne yeebaka.
“Bwesifuna hafu kkiro ya kawunga, nfumba amazzi agookya n’ensuulako amajaani n’enywa , n’ekiba ekyeggulo,” bwe yagambye.
Nalulungi wa Karamoja, Asumpta Ojao, ali mu mitambo gy’okusakira emmere, yagambye nti abasobola okwetusaako ekyokulya bafuna ekibu kimu.
Enjala ogirabira ku nfaanana y’abantu, era oluba kulengera ku mmotoka eyettise emmere bagigoba nga bakkutte obulobo n’obuveera.
Sylvia Akutu, 62, ow’e Kokoi olwafunye ekkiro 10 ez’akawunga n’ebijanjalo, yagambye nti bijja kumutwala ennaku 10 n’omosobyo.
Becky Mubeezi a ne Sharon Nassanga aba Becky Child Foundation abaabawadde ku mmere, beebazziza emikutu gya Vision Group efulumya ne Bukedde olw’okubunyisa amawulire, agaleese abazirakisa okutaasa obulamu bw’abantu.