MINISITA omubeezi ow’ebyenjigiriza ebya waggulu Dr. John C Muyingo, atenderezza yunivasite ya ISBAT okutumbula ebyenjigiriza mu ggwanga n’asaba abayizi abatikkiddwa okwewala emize emibi ng’okunywa om-wenge n’okukozesa ebiragalalagala, wabula bakozese obukugu bwe bafunye okwetandikirawo emirimu n’okukulaakulanya eggwanga lyabwe Uganda.
Abadde ku yunivasite eno gy’abadde omugenyi omukulu mu kutikkira okw’omulundi ogw’e 17 bukyanga etandikibwawo mu 2005 ng’omukolo gwabadde ku Hotel Africana ku Lwokuna. Abayizi abasoba mu 500 be baatikkiddwa
diguli esooka n’eyookubiri, wamu ne dipulooma.
Minisita Muyingo yeebazizza abatandisi ba ISBAT olwebyo bye bakoledde eggwanga omuli; oku-weerera Abakaramoja ku bwereere nga ne mu batikkiddwa mubad-demu Abakaramojja 18.
Akulisizza ISBAT okulondebwa ng’emu ku yunivasite 10 ezisinga okusomesa ku ssemazinga wa Africa, n’ategeeza nti baweesezza eggwanga ekitiibwa n’abeebaza okukolagana ne yunivasite za wano, nga babasunira ku bukodyo bw’okubangula abayizi, n’ategeeza nti gavumenti eri mabega waabwe.
Cansala wa ISBAT Jachan Fred Omach, yeebazizza pulezidenti Museveni olw’okuteekawo emirem-be mu ggwanga ekibasobozesezza okuwangula, n’ategeeza nti ISBATerina ensi 37 awava abayizi abasom-erayo, ekitumbula Uganda ebweru waayo, naategeeza nti n’omukutu gwa Job Portal ogwateekebwawo ISBAT guyambye abayizi okufuna emirimu wano n’ebweru.
Varghese Mundamattam, ssentebe w’abatandisi ba ISBAT, yasabye gavumenti okubakend-eereza ku misolo kubanga mingi, n’okukendeeza ku bintu ebikoze-sebwa mu tekinologiya bibeere nga bisoboka eri abantu ba wansi.
Moses Okwalinga okuva mu Na-tional Chamber of Commerce and Industry agambye nti ebitundu 70 ku 100 mu ggwanga bya bavubuka abali wansi w’emyaka 35, n’asaba abatikkiddwa okwerwanako nga batwala amagezi ge bayize okutan-dikawo emirimu.
Oluvannyuma minisita Muyingo yatongozza ekitabo ekituumiddwa “ Navigating the PhD Journey with Purpose and Passion”, ekiyambako