OMUSUMBA w’ekkanisa ya Miracle Center Cathedral e Lubaga, Robert Kayanja alabudde Bannayuganda abeejalabya n'abasaba obuteemalaamu mu lunaku olumu lwokka.
Okwogera bino, yasinzidde mu kusaba kwa Ssekukkulu n'ategeeza nti newankubadde okujaguza kubeerawo, naye ate abantu tebateekeddwa kwerabira buvunaanyizibwa bwabwe bulala ng'okuweerera abaana n'ebirala.
Abakkiriza Abaabaddeyo Mu Kusaba.
Kayanja yasabye abantu okwefumiitiriza ku mbeera y'obwavu Yesu kristo mwe yazaalibwa wabula ne yeenunula ssaako n'okulokola bonna, n'agamba nti abantu bateekeddaa okukola ennyo ate n'okuwa omusolo kiyambe ku ggwanga.
Yasabye Abakkiriza okumanya ebintu ebikola, okukuuma n'ebyongeza obugagga n'agamba nti ssinga bino babikwatako butereevu, baakwerokola okuva mu bwavu obubafumbekeddemu ensangi zino.
Kayanja Ng'annyonnyola.
Kayanja era yasinzidde mu kusaba kuno n'asaba abantu okukyusa endowooza zaabwe batwale ekyokulabirako kya Bakaramoja kati abakyuse nga batandise okulima wabula n'alabula abasajja baayo okuva ku mwenge ssinga baakwongera okukulaakulana.