Poliisi e Masaka ekutte n'egalira abasajja 3 kubigambibwa nti be bamu ku kabinja akanyagulula n'okubba aba mobile Money mu bbendobendo lye Masaka.
Abakwate ye Aiden Muwanguzi 29 Ronald Makoona 22 nga bano batuuze be Makindye ne Albert Amanya 24 omutuuze we Zana mu Kibuga kampala.
Kigambibwa nti bano baludde nga bakozesa obukodyo obwenjawulo okubba aba zi Mobile money n'okubabbako amassimu gamwe.

Aiden Muwanguzi ayambadde omujoozi omumyufu Ronald Makoona ayambadde ekijaketi ne Albert Amanya abakwatiddwa ku by'okubba aba mobile Money e Masaka
Bano okukwatibwa kyaddiridde omu kubakozi ba Mobile Money mu Kabuga ka kitengeesa agambibwa okuba nti Muwanguzi ne banne bamubbako ensimbi ezisoba mu bukadde 5 omwaka oguwedde ne babula kyokka nabalaba nga bakomyewo mu kitundu kyekimu n'ekigendererwa ekyokubba munne bwebakola omulimu guno nalaya enduulu eyasombodde abatuuze ne babakwata yogayoga ku kitebe kya poliisi e Masaka
Kyokka abakwate beeganyi ebibogerwako nga bagamba nti bigendereddwamu kibasibako matu gambuzi okubaliisa engo.
Omwogezi wa poliisi mu bbendobendo lye Masaka Twaha Kasirye akakasizza okukwatibwa kwabano navumirira ekyabavubuka okulowooleza mu kubba mukifo kyokukola.