MU Uganda omuwendo gw’abantu abakwatibwa kookolo w’amawuggwe gweyongera
buli lunaku, ng’okunoonyereza kulaga nti, buli mwaka ekitongole ekijjanjaba kookolo ekya UgandaCancer Institute mu ddwaaliro e Mulago, kifuna abantu abapya abakwatibwa kookolo ono 600 kyokka nga ku balwadde abo 93 ku 100 babeera batuuse ku mutendera ogwokuna ng’omukisa gw’okuwona gubeera mutono.
Dr. Naghib Bogere, omukugu mu kujjanjaba kookolo w’amawuggwe mu kitongole kino, omu ku beetaba mu kunoonyereza okwakolebwa mu 2022 ku bulwadde buno era agamba nti, abakyala abamulwala bangi okusinga ku basajja. Baazuula nga ku balwadde 207 abaakolebwako okunoonyereza, 117. 5 nga bye bitundu 57 ku 100 baali bakyala.
Bogere agamba nti, abalwadde
abaafa oluvannyuma lw’okufuna kookolo w’amawuggwe baali bangi okusinga ku baawona.
“Twatandika okunoonyereza ng’abalwadde bali 207, kyokka mu myezi ena n’ekitundu, abalwadde 100 baali bamaze okufa, we twawereza emyaka ebiri n’ekitundu twali usigazzaawo abalwadde bataano nga 202 bonna bafudde,” Dr. Bogere bw’ategeeza.
EBIVAAKO KOOKOLO W’AMAWUGGWE
Dr. Bogere annyonnyola nti, tewali kawuka kaleeta kookolo w’amawuggwe, wabula embeera z’abantu ze tubeeramu okuli :
1 Okunywa ssigala n’ebiragalalagala : Okunywa ssigala kyongera emikisa gy’okulwala kookolo w’amawuggwe kubanga taaba alimu ekirungo eky’obutonde ekikosa amawuggwe buli lw’omuyingiza, ate n’akamwa singa omugaaya.
Ennaku zino abantu banywa taaba mu ngeri ez’enjawulo okuli ne shisha, mu mmindi. Kikutwalira akabanga okutandika okulaba ng’akukosa kubanga akulwaza mpola mpola.
2 Bw’obeera okumpi n’abantu abafuuweeta sigala obeera n’emikisa mingi okukwatibwa
amangu kookolo w’amawuggwe okusinga abamufuuweeta.
3 Omukka oguva mu nku ezifumbisibwa emmere nagwo gulwaza kookolo w’amawuggwe era ekirowoozebwa nti, yandiba ensonga lwaki omuwendo gw’abakyala abalwala kookolo w’amawuggwe gweyongera.
Okunoonyereza kulaga ng’abakyala abalwala kookolo ono babeera tebafuuweetangako ku sigala.
LWAKI BATONO ABAWONA KOOKOLO W’AMAWUGGWE
Dr. Bogere agamba nti, ku bantu abalwala kookolo, 93 ku 100 batuuka mu malwaliro nga bali ku mutendera ogwokuna, olw’okuba basooka kwejjanjaba kifuba nga balowooza nti, kye kibaluma.
Mu nsi z’ebweru, omulwadde bw’abeera ku siteegi esooka, aba n’emikisa 65 ku 100
egy’okuwona, ku yookubiri 40 ku 100, eyookusatu 30 ku 100 ate eyokuna 8 ku 100, era bwe kiri ne mu Uganda.
ENZIJANJABA YA KOOKOLO W’AMAWUGGWE