TEHRAN, IRAN
KATI ate olutalo gye lutuuse tewaasoboke. America ekubye emmeeri za Iran ttaano (5) ne zibbira mu kagolomolo n’agayanja ga Buwalabu amalala.
Iran yeesasulizza ku magye ga America mu Buwalabu kw’egasse n’okuwamba lubbira yaayo enkessi.
Mu bujjuvu byabadde bwe biti; Amawulire ga Reuters gagamba nti, olukuba olwabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu, ky’ekiro America ky’ekyasinze okukubiramu Iran bukya lutalo lwabwe lutandika mu February wa mwaka guno.
Eggye lya America erya US Central Command erivunaanyizibwa ku lutalo luno lyategeezezza nti, emmeeri za Iran zaabadde zijeemera ekiragiro ky’obutatunda mafuta ga ggwanga eryo mu mawanga g’ebweru ate nga lyegeza ne mu kukuba emmeeri za America ennwaanyi.
Wano olukuba olw’amaanyi we lwatandikidde, eggye eryo ne lifulumya obutambi obulaga emmeeri za Iran nga ziteta n’amafuta gaazo agaabadde gakubyeko oluvannyuma ne zibbira.
Engeri America gye yasesebuddemu emmeeri za Iran. America ekubye emmeeri za Iran 5 ne zibbira Zaagudde mu gayanja okuli erya Persian Gulf, Gulf of Oman ne mu kagolomolo ka Strait of Hormuz.
Emu ku mmeeri za Iran ezaakubiddwa ye M/T Riesco, eyabbidde n’ebyakwo byonna mu liyanja lya gulf of Oman.
ENGERI IRAN GYE YEESASUZZA
Mu kwesasuza, eggye lya Iran erya Islamic Revolutionary Guard Corps ligamba nti, lyakubye emmeeri za America ennwaanyi 10.
Okwo era lyewaana bwe lyakubiddeko n’emmeeri z’amawanga amalala ezaabadde zigezaako okukukusiza amafuta mu kagolomolo. Eggye eryo ligattako nti lyakubye n’enfo za America mu Jordan kyokka eggwanga eryo ligamba nti, mizayiro ezaabadde zirumbye zaakubiddwa.
IRAN EWAMBYE LUBBIRA YA AMERICA
Iran egamba nti yawambye lubbira y’eggye lya America enkessi eyabadde esindinkiddwa okukung’aanya bwino mu kagolomolo.