OMULABIRIZI wa North Buganda Fied etwala Luweero, Nakaseke ne Nakasongola atuuziddwa wakati mu kukubiriza bannauganda okwagalana ebitundu n'ensi lwe bijja okukulakulana. MIinisita w'ebyenguudo n'entambula Gen Katumba Wamala asinzidde ku kkanisa y'abadiventi mu kibuga Luweero mu kutuuza omulabirizi Pr. David Semwogerere n'agamba nti abantu tebasaanye kweyawula lwa ddiini, mawanga na bibiina bya bufuzi kuba binoi bya kunsi gye tuyitamu obuyisi ng'ekikulu kya kwagalana. Akuutidde abakulembeze ne bannaddiini okukunga abantu okukkumbira enteekateeka za gavumenti ez'okwekulaakulanya basobole okwegobako obwavu beeyagalire munsi yaabwe nga balina akasente munsawo.
Abakyala Abadiventi
Pr Simogerere ng'awubira ku bantu