BANNA Kawempe basabye ayesimbyewo okuvuganya ku bwa pulezidenti ku kibiina ki Alliance for National Transformation munnamagye eyawummula, Gen.(Rtd) Gregory Mugisha Muntu obutabavaamu bwe bamulonda ku bwapulezidenti.
Muntu bwe yabadde abuuza ku bantu b'omu Kisenyi eggulo mu Kampala
Yabyogeredde ku kisaawe kya Kawempe Muslim Primary School ku Ttaano bwe yabadde aggulawo kkampeyini ze.
“Nze ssente tezinyeenya ebitiibwa tebinyeenya, ebifo tebinyeenya. Nnalina ccepe zonna mu magye naye nabireka era nze sikwata ku sente ya muwi wa musolo mubuuze abo abaaliko mu magye akaseera bwe nnali nga nze nkulira amagye nga ssente nzirabako." Muntu bwe yayanukudde.
Mu bubaka bwe, Muntu yategeezeza nti eggwanga waliwo eby’obugagga ebyazuuliddwa mu disitulikiti y’e Busiya ne Bugiri era nga ssinga biremererwa okussibwa mu mikono emituufu eggwanga siryakuganyulwa.
Muntu yategeezezza nga pulezidenti Museveni bwe yamuwandiikiranga ebbaluwa 18 ng’amuyita okumuwa obwaminisita wabula n'agaana ky’agamba nti yabeefuulira n'ava ku mulamwa ogwabatwala mu nsiko era nga tasobola kuweerereza mu gavumenti gy'agamba nti ebitongole byayo tebikyakola.
Muntu yasabye banne bonna nga bwebali kuludda oluvuganya obuteerwanyisa bokka na bokka n'ategeeza omulamwa gwabwe guli gumu nga ne bwe banaabeera waliwo ebitagenze bulungi balina kukwataganira wamu bakole eggaali kuba okukola eggali kintu kikulu.
Yasabye abantu be okukuuma empisa baleme kuvumagana n’abali ku ludda oluvuganya n'ategeeza nti aba ANT tebakubaganangako na kibiina kyonna ekiri ku ludda oluvuganya era nga tekirisoboka.