Abadde akulira eby'okulonda mu NRM e Kalungu afudde Covid

BANNAKALUNGU babuutikiddwa ensisi olw'amawulire g'okufa kw'abadde akulira eby'okulonda mu kibiina kya NRM mu disitulikiti eno David Livingstone Matovu Muzanganda ng'afiiridde mu maka ge e Bukulula.

Muzzang'anda ng'akubiriza okulonda
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
Bya Ssennabulya Baagalayina
  
Muzang'anda y'akulirako ekibiina kya Baganda Nkobazamboga ku Yunivasite e Makerere n'asomesaako mu ssomero lya ba Bbulaaza erya St Charles Lwanga Kasasa SS e Bukulula n'oluvannyuma ne yesogga eby'obufuzi.
  
Mu 2001,Muzanganda y'omu ku baavuganya ku ntebe ya Paalamenti ey'omubaka wa Kalungu East ng'ayagala okuddira mu bigere by'eyaliko Katikkiro wa Uganda Hon Kintu Musoke ng'annyuse ebyobufuzi kyokka n'awangula Umar Lule Mawiya.  
   
Wano Muzang'anda yeesimbawo ku bwakansala bw'eggombolola y'e Bukulula ng'agikiikirira ku disitulikiti ya Masaka ey'awamu nga tennakutulwako ndala okuli Lwengo,Bukomansimbi ne Kalungu.
 
Late Muzanganda (1)

Late Muzanganda (1)

Muzzang'anda ng'akubiriza okulonda kwa NRM gye buvuddeko
   
Muzang'anda ng'ali e Masaka yalondebwa ku Bwasipiika bw'olukiiko lwa disitulikiti eno wansi w'obukulembeze bwa Ssentebe Vincent Bamulangaki Ssempijja era bavaayo bombi ng'emaze okukutulwamu ne badda e Kalungu.
   
Nnamwandu Florence Najjoba n'abafamire Godfrey Muliika,John Ssozi ne Esther Nnakanwagi bategeezezza nti Muzang'anda afudde bulwadde bwa COVID 19 wadde ng'abaddemu n'obulwadde bwa sukaali obumulumidde ekiseera ekiwerako.
    
Bagambye nti bino by'abakakasiddwa n'abasawo abamuggyeko sampolo za COVID mwe bakizuulidde nti abadde nabwo wadde nga bo tebasooka kukitegeererawo olw'akaseera akatono k'agondeddemu nga baali balowooleza mu sukaali gw'abadde naye.
 
 Dsc2239

Dsc2239

    
N'abafamire baabakebedde era obulwadde ne babuzuula mu mukyalawe kati namwandu n'omwana omu kwe kupapirira bafune obujanjabi obutaasa Muzang'anda ekitasobose naye nga bo ab'awaka tebannakosebwa kisusse.
  
Abafamire bakiriziganyizza n'abadde Ssentebe wa LCIII e Bukulula Charles Muyanja ng'abadde mukwano gwa Muzang'anda ne bategeeza nti obulwadde alabika yabufunira mu mmisa y'okusabira emyoyo gy'abagenzi okwali n'ogwa kitaabwe Deusdedt Yiga okwaliwo nga May 30,2021.
   
Bagamba nti ku mukolo guno Muzang'anda baliraanigana nnyo ne muganda waabwe Omulamuzi w'eddaala erisooka Grace Ssemaganda nga ne mu kwogera bakozesa omuzindaalo gwe gumu ebyembi nga wayise ennaku bbiri n'omulamuzi Ssemaganda n'afa obulwadde bwa COVID nga June 6 era n'aziikibwa e Bukulula.
 
 Dsc2254

Dsc2254

 
Owa famire era ssentebe wa LCI e Lukuli Aloysius Ngobya Matovu agasseko nti okufa kw'omulamuzi Ssemaganda kwakosezza nnyo ebirowoozo bya Muzang'anda ebyalinnyisizza ne sukaali era n'afa ku Lwokutaano ekiro nga waakayita ebbanga ttono nga baziise omulamuzi Ssemaganda ng'ono y'ali akolera mu disitulikiti y'e Kabaale .
   
Bamulekwa Eveline Nnamatovu ne Jesca Nnalubega ku lwa bannaabwe bategeezezza nti okufa kwa kitaabwe kubakubye wala kuba y'abadde abatetenkanyizza mu kusoma n'okubabezaawo.
    
Wabula balaze okunyolwa olwa kitaabwe afudde ng'akiikidde ensingo eri ekibiina kye ekya NRM ky'akoleredde ebbanga eddene ne Pulezidenti Kaguta Museveni olw'obutasasulwa wadde okumukokoonyayo ku kifo ekisava.
 
Late Muzanganda (4)

Late Muzanganda (4)

    
Bawagiddwa omujjwa Ssozi asabye NRM okujjukiranga abantu baayo abagiyiirawo omubiri n'etabeerabira ne batuuka okufa nga bakukkuluma n'agamba nti kojja we Muzang'anda abadde mwagazi nnyo owa NRM ne Pulezidenti Museveni naye byonna ebizze nga bimusuubizibwa mpawo ky'afunye so ng'empapula abadde nazo.
 
   
Omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza n'omumyuka we Abel Bakunda boongedde okukalaatira Bannakalungu okussa mu nkola ebiragiro bya Pulezidenti n'amateeka g'abasawo mu kwekuuma COVID 19 kuba kati mukambwe nnyo.
    
Baalagidde n'abakozi ba Gavumenti bonna okuddamu okukeberwa ekirwadde kino oluvannyuma lw'okwesanga ng'abamu kubo babuzuuliddwamu so nga n'omuwendo gw'ababulina buli olukya gweyongera.