Bya Edith Namayanja
ABABAKA okuli; Theodore Ssekikubo ow’e Lwemiyaga n'eyali owa Kassanda South- Simeo Muwanga Nsubuga baagala minisita omubeezi ow’ebyettaka Sam Mayanja aveeyo abeetondere olw’okuboononera amannya nti benyigira mu mivuyo gy’okubba ettaka e Nakaseke.
Wiiki ewedde minisita Mayanja bwe yali e Bukalasa mu disitulikiti y’e Nakaseke waliwo omutuuze Erukaana Kagumba ayamuloopera ababaka ababiri bano nga bwebaliko ffamire gye beekobaana nayo okumugoba ku ttaka ye ly'agamba nti lirye.
Ababaka bano beesitudde ne basisinkana ffamire eyogerwako ey’omugenzi Ezra Kaye (Kagumba gy'alumiriza okwekobaana n’ababaka) esangibwa e Kikweke - Kirinda mu ggombolola y’e Wakyato mu Nakaseke Central wabula ng' ekyazuulidwa kiraga nti Ssekikubo puliida wa ffamire eno ey'abantu omwenda ate ye Simeo Nsubuga muwabuzi waabwe.
Damascus Kaggwa omu ku baana b’omugenzi Kaye agamba mutuuze w’e Kassanda nga eno gye yasisinkana omubaka Nsubuga n'amulojjera nga bwe bagogaganyizibwa ku ttaka lya kitaabwe era ng' ono ye yamuyamba okumuwabula agende mu kkooti n’abafunira ne puliida Ssekikubo okubayambako ku nsonga zaabwe.
Ettaka lino eriweza yiika 540 litudde ku block 849 plot 3, Kaggwa agamba liriraanye erya Kagumba eriri ku puloti 2.
Ono agamba nti Kagumba mutabani w’omugenzi Ben Lugumira eyali omupakasi wa kitaabwe (Ezra Kaye) ng' ono ye yamuwa ettaka lino era oluvannyuma Kagumba n'alisikira.
Entabwe eno okubaawo ye musika wakitaabwe Samwiri Katwe (mugenzi) eyali ayagala okozesa olukujjukujju atunde ettaka lino ng'aliguza Kagumba wabula n'amukozesa endagaano enfu nga bwe baagenda mu kkooti ekola ku nsonga za ffamire e Makindye, ettaka lyasooka kuzzibwa mu mannya ga kitaabwe omugenzi n’oluvanyuma kamisoona w’ebyettaka John Karuhanga n'akyusa ekyapa kino n'akizza mu mannya gaabwe mu 2013.
Abooluganda abalala okuli; Proscovia Nassuuna, Paul Musoke Kaye kwosa ne Richard Kanyike Kaye bategeezezza ng' ebiwandiiko byonna ebiraga nti be bannannyini babirina nga Kagumba bw'aba alina obukakafu agende mu kkooti abawawaabire kubanga bbo si beetegefu kwamuka ttaka lino .
Bano basabye pulezidenti Museveni ajje abayambe ku babbi kubanga bbo banaku nga kitaabwe yafa alwanirira Museveni kutwala buyinza.
Omubaka Ssekikubo agamba nti yeewunyizza nnyo minisita obutasooka kubatuuza kumanya kituufu ye naawa ekiragiro, nga kati ayagala abeetondere era abalage oba ddala alina obukakafu nti alina akakwate ku ttaka lino.
Ono agasseeko nti ng' omuntu eyasoma amateeka tateekeddwa ate kukolera waggulu waago so si kugajolonga nga kati ye yamunoonya amubuuze kwe yasinzidde okuwa ekiragiro ekitaliiko bukakafu.
Ye Simeo Nsubuga asabye minisita yeekubemu ttooci kw'ossa n’abakozi be kubanga abasinga bakola ensobi nnyingi nga bagulirirwa okuva mu babbi b’ettaka.
Wabula bwetuukiridde minisitassimu ategeezezza nga bwatanawa ku kiragiro kikwata bano, nti ye yagambye okunoonyereza kukolebwe bwe babanga ababiri bano beekobaana n'abeeganda okufuna ettaka mu bukyamu, awo kkooti kyenaasalawo kye kirina okugobererwa.