Amawulire

Kyagulanyi leero ali Luweero : ayanukudde Poliisi ku by'okukuba abawagizi be

Akwatidde NUP bendera ku ky'Obwapulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu ayanukudde omuduumizi wa poliisi Abbas Byakagaba ku bye yayogedde ku nsonga z'okumukuba n’abawagizi ttiyaggaasi n'okubatulugunya.

Kyagulanyi leero ali Luweero : ayanukudde Poliisi ku by'okukuba abawagizi be
By: Ponsiano Nsimbi, Journalists @New Vision

Akwatidde NUP bendera ku ky'Obwapulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu ayanukudde omuduumizi wa poliisi Abbas Byakagaba ku bye yayogedde ku nsonga z'okumukuba n’abawagizi ttiyaggaasi n'okubatulugunya.

Kyagulanyi ng'awayaamu ne Saha bwe baabadde tebannasimbula kwolekera Luweero

Kyagulanyi ng'awayaamu ne Saha bwe baabadde tebannasimbula kwolekera Luweero

Kyagulanyi asinzidde mu maka ge e Magere bw’abadde tannasimbula kwolekera Luweero gy’agenda okunoonya akalulu leeero n’agamba nti ebyayogeddwa Byakagaba byonna byabulimba kubanga tewali kye bakola kimenya mateeka okuggyako basajja be bennyini okwenyigira mu bumenyi bwa mateeka nga bamuzibira enguudo, okukuba abawagizi be n'okubakubamu ttiyaggaasi n’amasasi ekyaviirako n’omuwagizi we okuffa.

Kyagulanyi n'abamu ku babaka abaabadde awaka we.

Kyagulanyi n'abamu ku babaka abaabadde awaka we.

Agambye nti aba NRM bayisa ebivvulu nga n'eggulo e Mbarara baakikoze kyokka nga bakuumibwa poliisi ate nga basombebwa  loole za poliisi n’okukuumibwa abaserikale.

Kyagulanyi ategeezazza nti yafunye amawulire nti abakuumaddembe bateekateeka okumutuusako obulabe kwe kusalawo okutandika okwesabika ebyambalo ebitangira amasasi ky’abadde takola bulijjo.

Byakagaba yalumirizza Kyagulanyi n'abawagizi be okumenya amateeka g'akakiiko k’ebyokulonda okuli okuyisa ebivvulu okukuuma mu bawagizi be omuliro, okuyisa mu budde obulagiddwa mu mateeka g'akakiiko k’ebyokulonda, okuyisa ebivvulu n'ebirala.

Ono agenda kukuba enkung’aana satu mu Luweero mu bitundu okuli Zirobwe, Kalule ne Kigombwa.

Ono yeegattiddwako ababaka b'ekibiina kye abava mu Luweero okuli Lutamaguzi Ssemakula, owa Nakaseke South, Brenda Nabukenya omubaka omukazi owa Luweero, Denis Ssekabira owa Katikamu North, Hassan Kirumira (Katikamu South County), Robert Ssekitoleko ow’e Bamunanika n'abalala.

Tags:
NUP
Bawagizi
Kyagulanyi
Kukuba
Poliisi