ABABAKA ba Palamenti ku ludda oluvuganya basanze akaseera akazibu nga balambula enguudo embi mu Kampala bwe babaggyeeko mmotoka za Gavumenti ne basigala mu bbanga nga beemagazza.
Akulira oludda oluvuganya Joel Ssenyonyi yekka ye yasigadde n’eyiye abalala baabadde batambulidde mu mmotoka za Palamenti era abakulu olwalagidde baddereeva baazo ne bazivuga ne bazizzaayo .
Baabadde baakalambulako oluguudo lumu olwa Salaama mmotoka ne bazibaggyako.
Wakati mu kusoberwa baapangisizza emu ku ttakisi ezikola ku luguudo luno ebayambye ne zibatwaala ate nga n’abamu balinnye Boda Boda.
Loodi Mmeeya Erias Lukwago ye yabadde abayise balabe embeera embi ekibuga gye kirimu.
Baalagidde enguudo zikolebwe kubanga abantu bali bubi.
Joel Ssenyonyo eyakulembeddemu banne okuli; Ronald Balimwezo owa Nakawa West, Luttamaguzi Ssemakula (Nakaseke), ababaka abakyala okuli owa Wakiso; Betty Ethel Naluyima , Hellen Nakimuli owa Kalangala, Namugga , Francis Mwijukye n’abalala.
Baabadde ne Lukwago ssaako bammeeya b'amagombolola okuli owa; Lubaga Zacchy Mberaze ne Ali Mulyannyama ssaako sipiika wa Kampala, Zahara Luyirika.
Okulambula baakumaliddeko mu bugubi ng’abamu batambulira ku Boda Boda abalala takisi n’abamu mu kabangali.