Abaami ba ssaabasajja okuva e Kyaddondo batuuzizza olukiiko lw'essaza

ABAAMI ba Ssaabasajja Kabaka mu magombolola 11 agali mu Ssaza lye Kyadondo basisinkanye okutema empenda ku ngeri y’okuzzaamu Buganda ku ntikko ne basaba bannabyabufuzi okuvaayo bawagire entekateeka za Buganda.

Abaami ba Kabaka nga bali mu lukiiko
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

ABAAMI ba Ssaabasajja Kabaka mu magombolola 11 agali mu Ssaza lye Kyadondo basisinkanye okutema empenda ku ngeri y’okuzzaamu Buganda ku ntikko ne basaba bannabyabufuzi okuvaayo bawagire entekateeka za Buganda.

Nga basinziira ku kitebe kya munisipaali ye Nakawa e Naggulu baleze obwetaavu bw’abakulembeze mu by’obufuzi okuvaayo babawagire mu ntekateeka zaabwe zonna ez’okukulaakulanya Obuganda kubanga bano balina etofaali ddene lyebasobola okubagattako.

Omwami wa Ssabasajja ow’Egombolola ya mumyuka Nakawa Ssalongo James Ssekitooleko ategeezezza nti kano ke kaseera bannabyabufuzi okuvaayo batambulire wamu ku lw’obulungi bwa Buganda era n’ategeeza nti nabo betegefu okuwagira abo bonnb abatambula nabo kubanga Obwakabaka bwa Buganda tebusosola mu mawanga wadde nzikiriza ya muntu.

Abaami ba Kabaka

Abaami ba Kabaka

Kyokka Ssekitoleko awabudde abamu ku bakulembeze bannabwe abaagala okukolera mu kulengezza abalala n’ategeeza  nga kino bwekiri ekikyamu kubanga obuweereza bwonna bugoberera mitendera nga tekiba kirungi kugibuuka.

Omumyuka wa Ssentebe w’Olukiiko lw’amagombolola agakola Essaza lye Kyadondo era nga y’atwala Egombolola ya Ssabawaali Gombe, Eric Sserugo asabye abaami mu ssaza lyonna okukwataganira awamu babeeko enkulaakulana gyebateeka ku ssaza lyabwe.

Sserugo era asabye amagombolola gonna agatannaba kuwaayo alipoota ez’emyezi esatu okukikola mu bwangu kubanga kiyambako mu kwekubamu ttooci okumanya ewakyali ebirumira bikolebweko.

Mmeeya we Nakawa Paul Mugambe ayogedde ku Ssaza lye Kyadongo nga erimu ku ago amasaza agaasookawo nga kikulu nnyo okusigala nga likola nga eky’okulabirako ekirungi eri abalala.