Abawagizi b'ekibiina kya NUP 7 bakwatiddwa ku bigambibwa nti beenyigidde mu kukola efujjo e Kawempe mu Kampala.
Mu kavuyo akabaddeyo, kigambibwa nti abasirikale ba poliisi 7 batuusiddwako ebisago ebyamaanyi , n'emmotoka za poliisi ne zoonoonebwa.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, ategeezezza nti mu mmotoka ezoonooneddwa mwe mubadde ne ambulensi ya poliisi.
Ayongedde okulabula abawagizi , okubeera abagendereza ennyo n'okweyisa obulungi mu biseera bino ebya kampeyini...