Aba Uganda Kwekwaffe Business Forum bayise sipiika wa KCCA ku  bugenyi obukulu mu lukung'aana e Canada

ABA Uganda Kwekwaffe Business Forum bayise Sipiika wa KCCA Zahara Luyirika okubeera omwogezi omukulu ku lukung’aana lwa July e Canada.Sentebe wa Uganda Kwekwaffe era pulezidenti wa Uganda Culture in Diaspora, Kassim Ssali asisinkanye Sipiika Luyirika mu ofiisi ye ku City Hall mu Kampala ne battaanya enteekateeka eno.

Sipiika wa KCCA Zahara Luyirika ng'ali ne Ssali Sentebe wa Uganda Kwekwaffe
By Benjamin Ssemwanga
Journalists @New Vision

ABA Uganda Kwekwaffe Business Forum bayise Sipiika wa KCCA Zahara Luyirika okubeera omwogezi omukulu ku lukung’aana lwa July e Canada.
Sentebe wa Uganda Kwekwaffe era pulezidenti wa Uganda Culture in Diaspora, Kassim Ssali asisinkanye Sipiika Luyirika mu ofiisi ye ku City Hall mu Kampala ne battaanya enteekateeka eno.
Ssali ategeezezza nti olukung’aana luno olugenda okubeera mu Kibuga Edmonton, e Canada bagenda kusisinkana abakulembeze ab’enjawulo okuli; Meeya wa Alberta, Katikkiro w’ekibuga Edmonton n’ebibuga ebirala.

Sipiika wa KCCA Zahara Luyirika ng'ali ne Ssali Sentebe wa Uganda Kwekwaffe

Sipiika wa KCCA Zahara Luyirika ng'ali ne Ssali Sentebe wa Uganda Kwekwaffe


Sipiika Luyirika agambye nti mwetegefu okugenda okusisinkana abakugu n’abakulembeze beebibuga ebirala okulaba nga batema empenda ezitwala Kampala mu maaso.
Eno yaagenda okukulembera abalala abava mu KCCA ne Uganda okutwaliza awamu abaneetaba mu lukung’aana lw’ebyobusuubuzi nga July 1 okutuuta July 3, 2022.
Abagenda basimbula ku nkomerero ya June, Ssali agamba nti enjawulo eriwo omwaka guno okwawukana n’oguwedde ogwatataaganyizibwa Covid-19, abagenda abamu baakufuna omukisa okwetaba mu nteekateeka ya July kyokka ne mu August waliyo The World Heritage day..