Buddu ekubye Gomba ggoolo 1-0 mu gugguddewo amasaza

Buddu yakubye Gomba ggoolo 1-0 mu mupiira ogugguddewo emnpaka z'amasa e Buddu ku kisaawe kya Kitovu Arena.

Katikkiro ng'awuubira ku bantu
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

Buddu yakubye Gomba ggoolo 1-0 mu mupiira ogugguddewo emnpaka z'amasa e Buddu ku kisaawe kya Kitovu Arena.

Buddu ng'ettunka ne Gomba

Buddu ng'ettunka ne Gomba

Buddu okukyaza Omupiira oguggulawo , Kiri mu mateeka g'empaka zino agagamba nti essaza eriwangula ekikopo lyerikyaza Omupiira ogubeera guggulawo Empaka eziddako. Buddu yeyawangula ekikopo mu 2024 bweyakuba Kyaggwe ggoolo 1-0.

Katikkiro ng'ali ku bunkenke team ye eya Buddu bagitwala

Katikkiro ng'ali ku bunkenke team ye eya Buddu bagitwala

Empaka zino zigguddwawo Katikkiro Charles Peter Mayiga era nga ziwagirwa Airtel, Centenary Bank, PLASCON, UNAIDS, Uganda Aids Commission,Majestic Brands  n'ebitongole ebirala.

Katikkiro ng'abuuza ku team ya Buddu

Katikkiro ng'abuuza ku team ya Buddu

Omuwagizi ng'awaga

Omuwagizi ng'awaga