Aba takisi bagugubye ku bibonerezo by’oku nguudo ebikakali

ABAKULIRA ekibiina kya UTOF ekitwala omulimu gwa takisi mu ggwanga baweze nga bwe batagenda kukkiriza ebibonerezo ebipya ebyaleeteddwa Gavumenti ku nkozesa y’e nguudo okutuusa nga batuuse ku kukkaanya.

akulira omulimu gwa takisi okuva ku buli siteegi mu ggwanga nga basisinkanye aba minisitule.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAKULIRA ekibiina kya UTOF ekitwala omulimu gwa takisi mu ggwanga baweze nga bwe batagenda kukkiriza ebibonerezo ebipya ebyaleeteddwa Gavumenti ku nkozesa y’e nguudo okutuusa nga batuuse ku kukkaanya.

Okuwera baakukoledde mu lukuhhaana, aba minisitule ey’ebyenguudo lwe baabayiseemu ku ofiisi zaabwe e Kyambogo okubasomese ku nteekateeka ey’ekukuba ebipapula eyitibwa Express Penalty Scheme mu tekinologiya omupya ayitibwa ‘The Intelligent Transport Monitoring System’ (ITMS), gavumenti gy’ereese okukwasisa amateeka g’oku nguudo.
Akulira UTOF, Hajji Rashida Ssekindi yagambye nti tebawakanya gavumenti kukozesa kkamera z’oku nguudo okulwanyisa abavuga endiima n’okukuba ebitaala nga bakozesa kkamera naye bawakanya enkola empya eyaleeteddwa ey’okwongera ebibonerezo n’okukendeeza ennaku ezirina okusasulirwamu ebipapula bino.
“Omusango gw’okuvuga endiima ssaawa zino bwe bakukwata, osasula 200,000/- kyokka mu nkola empya avuga endiima bw’anaakwatibwako ng’ayisizzaamu sipiidi 31 kw’ezo z’alina okuvuga alina okusasula 600,000/- kyokka nga kuno gavumenti efunako ebitundu 20 ku 100 zokka,”Ssekindi bwe yategeezezza.
Enkola enkadde omuntu abadde aweebwa ennaku 28, z’alina okusasuliramu ekipapula kino naye nga weesanga nga bangi balemererwa kyokka mu nkola empya bongezza ssente okutuuka ku 600,000/- z’olina okusasula mu ssaawa 72.
Aba takisi bavudde mu lukuhhaana luno nga bawandiikidde minisita w’ebyentambula, Gen. Katumba Wamala nga bamusaba obutateeka mukono ku tteeka lino eppya gavumenti ly’eyagala litandike okukola nga May 16, 2025.ETTEEKA EPPYA KYE LIGAMBA
Judith Karara, avunaanyizibwa okulondoola enkozesa y’enguudo mu minisitule y’ebyentambula yagambye nti mu tteeka eppya bagenda kukozesa kkamera okukuba ebipapula.
l Mu bifo omuli amasomero, amalwaliro tokkirizibwa kuvuga sipiidi zisukka 30, mu bubuga wakati tosukka sipiidi 50 ate ku nguudo mwasa njala (High way) tosukka 80 nga bw’ozisukka olina okufuna ekipapula.
Suzan Kataike, omwogezi wa minisitule eno agamba nti abakozesa ebidduka basobola okwewala ebipapula bino nga mukyusizza mu ngeri gye mweyisaamu ku luguudo.
Omuserikale wa poliisi y’oku nguudo ajja kusigala n’obuyinza okuyita abagoba okukuba ebitaala kyokka ajja kusooka kutegeeza ng’abali mu kkamera baggyeeko sisitiimu ekuba ebipapula.
Omuntu yenna bw’anaamenyanga amateeka, fayini egendanga kuggya ku nnamba ya nannyini mmotoka gye yagiwandiisizzaako oba ‘email’ ng’ekulaga omusango gw’ozzizza, ekifo, nnamba ya ssimu yo, olwo gwe bw’obeera w’agyazise bunaabeeranga buvunaanyizibwa bwo okunoonya gwe wagiwadde akuwe ssente osasule.