Omusomesa wa Seeta High bamusse

POLIISI y’e Mukono ekutte abantu bataano abateeberezebwam okutta omusomesa wa Seeta High e Mbalala. Eyattiddwa ye Ivan Oloya, 30, mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga

Omusomesa wa Seeta High bamusse
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI y’e Mukono ekutte abantu bataano abateeberezebwam okutta omusomesa wa Seeta High e Mbalala. Eyattiddwa ye Ivan Oloya, 30, mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga.
Okusinziira ku difensi w’ekyalo Bajjo - Kirundi ekisangibwa mu divisoni y’e Nyenje e
Mukono, Godfrey Mayombwe, Oloya gye baamuttidde, omugenzi yavudde ku ssomero
ku ssaawa nga 4:00 ez’ekiro n’ayolekera ku ssomero lya Code High School gy’abadde asula ne mukyala we.
Wabula yabadde abuzaayo mmita nga 50 okutuuka ku geeti y’essomero, n’agwa mu kabinja k’abavubuka abaamukubye akayondo ku mutwe n’okumufumita ebiso ne
bamubbako laptop n’essimu.
Yagambye nti oluvannyuma lw’okutemezebwako omutuuze eyalabye omulambo ku kkubo, baakubidde poliisi eyaleese embwa enkonzi y’olusu ezaayambye okuzuula abateeberezebwa ne bakwatibwa. Abaakwatiddwa kuliko; Paul Kasumba 21, Simon Mabale 23, Tom Kibuuka, 38, Simon Lukoda 18 ne Dani Charles Kandole 16 mu bitundu by’e Seeta nga baabasanze bapangulula laptop eteeberezebwa okubeera
ey'omugenzi. Abatuuze baasabye aboobuyinza babateerewo ebitaala kuba ekitundu kifuuse kattiro olw'enzikiza. Baagambye nti abantu basatu be baakattibwa mu myezi esatu nga bonna babatta mu ngeri y’emu. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti abakwate bakuumirwa ku poliisi y’e Mukono ate omulambo gwa Oloya guli mu ggwanika e Mulago