OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti ya Uganda, Thomas Tayebwa yeetabye ku mukolo gw'okusabira abayizi ba S4 aba Seeta High e Mukono abagenda okutuula ebigezo ebitandika nga October 11.
Tayebwa, y'omu ku bazadde baayo era yabakubirizza okukwatira awamu bayambe abaana baabwe okuganyulwa mu nsoma empya kuba yeetaaga nnyo obuwagizi bw’abazadde.
Fr. John of God Masaaba, eyakulembeddemu Mmisa, yakubirizza abayizi okukulembeza Katonda n’okwekkiririzaamu, kibayambe okuyitira waggulu.
Omukulu w’essomero lya Seeta High Mukono Campus, Boniface Ssebukalu yeebazizza Gavumenti okuleeta ensoma empya gy’agamba nti eganyudde abayizi n’abasomesa era basuubira ebibala ebirungi.
Mu ngeri y’emu, abayizi 270 be bagenda okutuula S4 ku Seeta High Green Campus era mu kubasibira, Faaza Anthony Ifeany Chukwu enzaalwa y’e Nigeria, yabakubirizza okukulembeza Katonda.
Ku Seeta Hign A Campus, abayizi 412 be bagenda okutuula S4 era Faaza Deoglatius Kiibi yagambye nti okusaba kwongera okujjukiza abaana nti Katonda y’akulembera mu buli nsonga