Amawulire

Katikkiro akubirizza abavubuka okwetaba mu nzirukanya y'emirimu gy'ebika

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye ebika okukola kyonna ekisoboka okusikkiriza abavubuka mu nzirukkanya y’emirimu.

Katikkiro ng'akwasa Micheal Mukasa Ssebbowa ebbaluwa ekakasa obukulu obwamuweereddwa
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye ebika okukola kyonna ekisoboka okusikkiriza abavubuka mu nzirukkanya y’emirimu.

Mayiga agamba nti kino kyakuyamba okutambuza emirimu ku sipiidi kubanga abavubuka bano bakyalina amaanyi n’obuvumu obukola emirimu.

Mayiga okwogera bwati abadde mu nsisinkano n’Olukiiko oluggya olukozi lw’emirimu mu kika ky’Omutima Omuyanja olwamwanjuliddwa, Omukulu w’ekika kino Omutaka Namugera Kakeeto owa 47 Nicholas Kasekende e Bulange- Mmengo n’agamba nti abavubuka bangi ddala mu ggwanga.

Ab'omutima nga bakwasa Katikkiro ebirabo

Ab'omutima nga bakwasa Katikkiro ebirabo

"Tulina okukola kyonna ekisoboka okusikkiriza abavubuka okwenyigira mu mirimu gy'ekika. Abato bano bakola ebitundu 75 ku 100. Abavubuka balina okujja mu nsonga z'ebika kubanga balina amaanyi ate balina n'obuvumu.

Mwe bebalonze mu kifo ky'abavubuka mulina omulimu munene era bwemunagukola mujja kulaba ng'abantu bangi benyigira mu nsonga z'ekika kubanga be bangi," Mayiga bwayogedde.

Katikkiro Mayiga asabye abali ku lukiiko luno batandikirewo emirimu egibawereddwa okutuukirizza n’agamba nti abawereddwa obuvunanyizibwa nebatabutuukiriza basingako abo ababukkiriza kyokka nebatabeerako kyebakola.

Asuubizza okuyita ab'omutima mu Butikkiro okusala amagezi ku ngeri gyebayinza okusondamu ssente z'okuzimba ekizimbe ku ttaka ly'ekika erisangibwa e Mutundwe mu ggombolola ye Lubaga.

Omutaka Namugera Kakeeto asoose kwanjula olukiiko oluwi lw’amagezi nga lukulemberwa Katikkiro Mayiga ng’obuvunanyizibwa buno wakubukola n’abalala okuli abadde Katikkiro w’ekika Joseph Mary Luberenga, Salim Makeera ng’ono era ye Munnamateeka w’ekika, ne Damus Mulagwe.

Katikkiro ng'ali mu nsisinkano n'abeddira Omutima

Katikkiro ng'ali mu nsisinkano n'abeddira Omutima

Olukiiko olukozi lukulemberwa Katikkiro Fredrick Kiteke Mujjuzi ng’amyukibwa Ssalongo Andrew Kaggwa, Robert Ssenkasi ye Muwandiisi, Munnamawulire ye Micheal Mukasa Ssebbowa ng’ono ye Mukunganya w’Olupapula lwa Bukedde ng’amyukibwa Musa Mayanja ne Catherine Grace Bbaale, Omuwanika ye Frank Kirangwa, Richard Mayanja w’abavubuka n’abalala.

Namugera Kakeeto awadde olukiiko luno eby’okutandikirako okukola okuli okugoba omusaatuusi ku ttaka ly’e Mutundwe, Justus Nuwajuna eyalikolako ebiwandiiko eby’ekimpatira n’azimba n’ekikomera, okulinunula saako n’okulikulakulanya, okuzukusa ekitavu ky’ekika, okutumbula obumu mu bazzukkulu.

Ekika kino kirina ettaka e Busega, Mpigi nga kuno kwe kwegatta Obutaka bwaakyo  obusangibwa e Bbaale mu Buddu ng’omukulu w’ekika agambye nti singa byonna bikulakulanyizibwa, bisobola okutumbula enkulakulana.

Ab'eddira Omutima nga bali mu kifaananyi eky'awamu ne Katikkiro

Ab'eddira Omutima nga bali mu kifaananyi eky'awamu ne Katikkiro

Munnamawulire ye Micheal Mukasa Ssebbowa ng’ono ye Mukunganya w’Olupapula lwa Bukedde yeebazizza Omutaka Namugera Kakeeto olw’okubalondobayo okuwereeza ekika era n’ategeeza nti bagenda kuteeka mu nkola obubaka obubasibiriddwa Katikkiro Mayiga.

Omukolo gwetabiddwako Minisita w’amawulire n’okukunga abantu mu Buganda, Israel Kazibwe ng’ono yakikkiridde Minisita w’Obuwangwa n’ennono atabaddewo. Abali ku lukiiko Mayiga abakwasizza ebbaluwa zaabwe ate oluvanyuma ekika nekikwasa ebyasaza ebyamuleteddwa

Tags: