ENTIISA egudde ku kyalo Nabiteete mu ggombolola y'e Kalagala mu Luweero ab'eng’anda bwe bagudde ku mulambo gw'omuntu waabwe eyali yabula emyezi mukaaga egiyise.
Omulambo gwa Aisha Mirembe gwasangiddwa mu kisenge kye mu kazigo ke yali yapangisa nga gwavunda dda nga gusigadde ngumbagumba. Oluggi olw'omu maaso lwasangiddwa luggale.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna, ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti okunoonyereza kwa bambega abaagenze mu kifo awaabadde omulambo kwalaze nti omugenzi alabika yattibwa buttibwa.
Twineamazima agambye nti omulambo gwasangiddwa mu masuuka nga musibeko mu mukeeka oguteeberezebwa nti gwagenderera kuziyiza kivundu. Omulambo gwatwaliddwa e Mulago okwongera okugwekebejja.
Poliisi era eteeberezza nti abatta omuntu ono baali baakulusegere nga muganzi we oba ow'enganda eyali ategeera obulungi w'asula era nga bayigga abakola ekikolwa kino.
Twineamazima asabye alina ky’amanyi ku ttemu lino abatuukirire abayambe mu kubuuliriza.