Bya Jaliat Namuwaya
EBIBIINA ebirabirira n'okubudaabuda abalwadde ba nalubiri ( sickle cell ) bivuddeyo ne bisiima Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi olw'omulimu omunene gwe yakola mu kwongera okumanyisa abantu ku bulwadde buno.
Kye bagambye nti kiyambye nnyo abantu okujjumbira okwekebeza ,okufuna obujjanjabi n'okwewala okugwa mu mukwano ne bannaabwe bwe bayinza okuba nga bombiriri balina obutofaali obuleeta obulwadde buno.
Tracy Nagawa, akulira ekibiina kya Uganda Sickle Cell Rescue Foundation ategeezezza nti okuva Ssaabasajja lwe yategeka emisinde gy'okudduukirira abalwadde ba nalubiri baakakebeza abantu abasoba mu mitwalo esatu obulwadde buno okwetoloola eggwanga so nga ate era bongedde okufuna obuyambi obugenda eri abalwadde .
Kati basabye gavumenti nayo ebeere ya kisa ng’eyita mu kwongera ministule y'ebyobulamu ssente ezigenda eri okujjajaba abalwadde ba nalubiri , okwongera okuteekawo ebifo ebijjanjabirwamu abantu abatawaanyizibwa obulwadde buno okwetoloola eggwanga naye okusingira ddala bagule ekyuma kye bayise 'cold blood bank ' ekiyambako mukuwa omusaayi eri abalwadde ba nalubiri singa oli ab’atuuse mu mbeera y'okugwamu omusaayi .
Abaana wakati w'e 25000 ne 30,000 be bazaalibwa n'obulwadde bwa nalubiri buli mwaka .
September, gwe mwezi ogw’okwongera okumanyisa abantu ku bulwadde bwa nalubiri mu nsi yonna era nga kino kyakutambulira wansi w'omulamwa ogugamba nti " Omanyi Sickle Cell " .