EKITONGOLE ky’ebigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board (UNEB) kifulumizza lipooti ku ngeri ebigezo pya P7 ebiyitibwa PLE bwe byatambudde.
Omuyizi omu yafiiridde mu bigezo, omu n’azirika n’atakola kigezo kisembayo, nga n’abasomesa bangi baakwatiddwa nga beenyigira mu kubba ebigezo.
Okusinziira ku lipooti eno efulumiziddwa omwogezi wa UNEB, Jennifer Kalule Musamba, abayizi basatu be baazaalidde mu bigezo bino.
Abayizi Mu Nnyiriri Nga Bakeberebwa.
Ate omuyizi Macline Nakayiwa owa Lubumba Primary School mu disitulikiti y’e Kassanda yafudde ekirwadde kya sickle cell oluvannyuma lw’okutabuka bwe yali yaakamaliriza ebigezo bye eby’olunaku olwasooka.
Ate e Wakiso mu ssomero lya Precious Lilies waliyo omuyizi eyazirise ng’ebigezo abadde abikolera mu ssomero lya Steven Jota Primary School n’atasobola kukola kigezo kye eky’okuna.
Kalule agambye nti UNEB yaakutuula erabe eky’okukolera omuyizi ono Nagirinya Lubowa eyafunye obuzibu buno okulaba oba anaaweebwa omukisa okukikola.
Kalule era yagambye nti abasomesa, abakulu b’amasomero n’abatandisi baago abawera abaakwatiddwa olw’ekwenyigira mu kukoppera abaana ebigezo. E Mpigi musanvu be baakwatiddwa omuli n’omukulu w’essomero lya St Mugagga Boy’s School, Nkozi, eyeekobaanye ne sikawutu wa UNEB eyabadde asindikiddwa e Mpigi ssaako abasomesa bataano abakuuma ebigezo nga nabo baakwatiddwa.
Ate e Lubowa ku lw’e Ntebe, poliisi yakutte omusomesa Ivan Sserugunza ow’essomero lya Joy Primary School eyazuulwa ne munne nga beekwese mu biyigo by’abayizi nga ababirongoosa, kyokka nga gye basinziira okulagirira abaana abagendayo ne babawa ansa za Mathematics n’abasomesa abalala abawera baakwatiddwa ku nsonga y’emu.