Bya Madinah Nalwanga
ABA Rotary Club y’e Kirinnya - Bukasa mu Bweyogerere nga bakulembeddwa
pulezidenti waabwe Sarah Lwansasula, basomesezza abakyala b’e Kiwale mu Ngogwe ku ngeri gye basobola okukola emirimu egyenjawulo basobole okwekulaakulanya.
Babaleetedde abasomesa ab'enjawulo okubabangula mu kwekulaakulanya, okuli Sandrah Twikirize, David Mukomba, Ismail Waiswa ne Roseline Amayo abaabagambye nti bazze kubazzaamu maanyi. Baabalagidde beekolemu omulimu buli omu bakyuse obulamu.
Baabakuutidde n’okusalawo ku biki bye baagala okubeera, balowooze ku ky’okukola bakiteeke mu nkola. Babagambye obutasirikira mabega ng’abakyala.
Babagabidde endokwa z’emiti gy’ebibala okuli emicungwa n’emiyembe.