Mukuume ettaka ng'eky'obugagga - Wagwa Nsibirwa

OMUMYUKA wa Katikkiro wa Buganda ow’okubiri, Oweek. Waggwa Nsibirwa akuutidde abantu okukola ebibiina by’obwegassi kubanga obwagassi y’emu ku nkola abantu mwe bayita Okwekulaakulanya era bangi baganyiddwa mu nteekateeka  ez’enjawulo ez'okwekulakulanya .

Mukuume ettaka ng'eky'obugagga - Wagwa Nsibirwa
By Madinah Nalwanga
Journalists @New Vision
#CBS Powesa #Wagwa Nsibirwa #CBS Funs Club

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro Ow'ek. Waggwa Nsibirwa akuutidde abantu okukola ebibiina by’obwegassi kubanga obwagassi y’emu ku nkola abantu mwe bayita Okwekulaakulanya era bangi baganyiddwa mu nteekateeka  ez’enjawulo ez'okwekulakulanya .

Ono okwogera bino, abadde akwasa ebiwandiiko by'ettaka eri ekibiina kya Bukasa Kirinya CBS Funs Club nga babadde ku Paradise Gardens e Bukasa ew’omwami wa Kabaka  Erukaana Sseggane n’ayozaayoza aba  CBS Funs Club olw’okukuuma obumu okusobola okutuukiriza ekirooto kyabwe eky’okugula ettaka nga bwe baakitegeka. Omukolo guno gukubiriziddwa Richard Kiyengo, mmemba mu kibiina ekyo.

Akuutidde abantu okukuuma ettaka ng'ekyobugagga era n’abeebaza olw’okumalirira kubanga ssente nzibu ya kukung'aanya, era abasabye okwongeramu amaanyi mu kutereka ensimbi nti n’Obwakabaka bwa Buganda bwakubakwasizaako.

Ow'ekitiibwa Nsibirwa Ng'akwasa Aba CBS Funs Club Ebbaluwa Eziraga Nti Baagula Ettaka (3)

Ow'ekitiibwa Nsibirwa Ng'akwasa Aba CBS Funs Club Ebbaluwa Eziraga Nti Baagula Ettaka (3)

Alaze obweraliikirivu Olw'abakulembeze abava mu Buganda abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba mu kulwanirila abantu baabwe ne batafaayo na kutuusa nsonga ziruma bantu zisobole okugonjoolwa.

 Asabye abantu okwekebeza okusobola okulwanyisa akawuka ka mukenenya.

Ssentebe CBS Ttaka Project atubuulidde ensonga lwaki baasalawo okutandikawo enteekateeka y'okugula ettaka ng’ate we balyegabanya era ne beebaza Ssaabasajja olw’okubateerawo CBS Pewosa. Ono ayasangudde n'okusoomoozebwa kwe bayitamu omuli obufere obukudde ejjembe mu by'ettaka.

Ow'ekitiibwa Wagwa Nsibirwa Mu Kooti Nempale Ebiddugavu, Ng'aliraanye Omuykadde Erukaana Sseggane, Addiriddwa Ibrahim Ssemujju Nganda Omubaka Wa Kira, Omuwanvu Emabega Mu Gomasi Ye Betty Ethel Naluyima Omubaka W

Ow'ekitiibwa Wagwa Nsibirwa Mu Kooti Nempale Ebiddugavu, Ng'aliraanye Omuykadde Erukaana Sseggane, Addiriddwa Ibrahim Ssemujju Nganda Omubaka Wa Kira, Omuwanvu Emabega Mu Gomasi Ye Betty Ethel Naluyima Omubaka W

Bano basabye katikkiro okubakwasizaako okufana endokwa z’emmwaanyi okusobola okuzisimba mu ttaka lye baguze.

Odoi Micheal, ssentebe wa CBS CLUB alaze bye basobodde okutuukako bukyanga batandikawo mu mwaka gwa 2017 omuli n'okufuna emisomo egya buli kaseera. agambye nti baagula yiika 6 Kirinya mu ggombolola ya Ssaabaddu - Kira , Kira munisipaali Bweyogerere Division mu muluka gwe  kirinya.

Omukwanaganya wa CBS Funs Club.Omuk.Male Busuulwa Ayogedde ku bukulu Obwatekesebwawo Ekibiina Kino, nategeeza nti  mu nteekateeka eno basobodde Okusimba ebibira Eby’enjawulo Okusobola Okukuuma Obutondebwensi kwosa nekusimba Emmwanyi ekiyambye Okuteekawo Obumu mu bantu.

Ow'ekitiibwa Nsibirwa Ng'akwasa Aba Cbs Funs Club Ebbaluwa Eziraga Nti Baagula Ettaka (2)

Ow'ekitiibwa Nsibirwa Ng'akwasa Aba Cbs Funs Club Ebbaluwa Eziraga Nti Baagula Ettaka (2)

Ono Ategezezza nga bwewakuwo Enteekateeka y'Okuteekawo CBS Funs club Sacco Okusobola Okusitula abalala.

Omubaka Betty Ethel Naluyima Abasabye Okunweza obw’egassi n’obumu nabagamba nti wadde mubaamu ebisomooza naye bisobola okugonjoolebwa.

Omubaka Ssemujju Nganda Agamba nti Essuubi ly’okwekulaakulanya balivaako dda mu kifo kyokukola ebibakulakulanya bateekawo byakufa

Mmeeya wa Kira Municipality Julius  Mutebi Asabye Abakulembeze b'Ekibiina kino okunyweza obumu era ne yeebaza Ssaabasajja olwokuteekawo ekibiina kino.