GIBADDE miranga na kwaziirana ku kyalo Kirinyabigo mu diviizoni y’e Nabweru mu munisipaali y’e Nansana, abatuuze bwe bagudde ku mulambo gw’omwana wa mutuuze munnaabwe ng’attiddwa mu bukambwe.
Abatuuze Nga Bawaniridde Maama W'omugenzi Namukwaaya Eyabadde Ayaziirana.
Kigambibwa nti abaakoze ekikolwa kino baamuggye mu luggya ng’azannya ne munne era omulambo guzuuliddwa nga gufumitiddwa ebiso mu bulago ne bamulembeka omusaayi.
Chloe Ndagire 4, abadde asoma middle class ku ssomero lya New life Junior School e Kirinyabigo yasangiddwa mu kifulukwa ky’ennyumba etannaba kuggwa nga yattiddwa mu ntiisa n’oluvannyuma abazigu ne bakuuliita n’omusaayi gwe baalembese ne baleka nga bamusudde mu bifulukwa by’omutuuze eyategeerekeseeko erya Joshua.
Omwana Eyattiddwa Bw'abadde Afaanana.
Omugenzi Ndagire azaalibwa maama we Sylvia Namukwaya 25 ne kitaawe Peter Ssendagire nga bonna batuuze b’e Kawanda nga maama we agambye nti muwala we abadde amaze ennaku bbiri ng’abuze okutuusa bwe baamuzudde nga mufu.
Poliisi Ng'etwala Omulambo Ku Kabangali Yaayo.
Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Kawempe Anthony Kituma agambye nti batandise okukola omuyiggo guno okukwata abasse omwana.
Alex Ssembatya, ow’ekitongole kya Make a Child Smile ekirwanirira eddembe ly'abaana agambye nti batandise okunoonyereza era waliwo abamu ku abo be basonzeemu olunwe nga we bagenda okutandikira ng’okuziika kuwedde.